Wasuubirwa okubaawo vvaawompitewo ku wooterri ya Fairway wano mu Kampala olunaku olwa leero ku mukolo ogutegekeddwa aba Tooro okusonderako ensimbi ezineeyambisibwa mu kutikkira Omukama wa Tooro omuggya David Kijanangoma ekiwayi ky’abaTooro ekimu gwekyagala okuzza mu bigere bya Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi owakana.
Omu ku bateeesiteesi Andrew Irumba agambye nti Oyo Nyimba ekibuga Kampala kyamunyaga ku Bukama,mbu munafu nnyo mu buweerezaabwe,teyeesalirawo watali nnyina,talina nkulaakulana gyaleese mu Bukama bukyanga awangama mu ntebee eno n’ensonga endala nnyingi nga wano webasinziira okusaba bannaabwe babakwasizeeko batikkire Omukama anaabatwala mu maaso.
Concert ya Uncle Kaboggoza,''Girl Wange'' eyengedde