Bwayogereddeko mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde mu Kampala olwa leero ng’afulumya alipoota ya poliisi ey’ennaku enkulu,Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti obubenje bw’okunguudo 115 bwebwagwawo nebuleka ng’abantu amakumi 51 balumiziddwa byansusso nebannaabwe amakumi 28 nebalumizibwamu akatonotono.
Enanga era ategeezezza nti abantu amakumi 41 be bafiiridde mu bubenje buno nga ku bano 17 baali bayise ba bigere,12 basaabaze mu mmotoka za buyonjo ne taxi ez’enjawulo,4 bagoba ba bodaboda,4 bagoba ba mmotoka ate omuntu omu yali muvuzi wa kagaali ka Manyigaakifuba.
Enanga agambye nti abasinze ku bafiiridde mu bubenje buno baabadde bayise ba bigere nga n’abagoba abaabatomera baali bavuga beekabazze enkangaali nga n’abandi bavuga ndiima na kimama.Wano waasinzidde n’asaba abagoba b’ebidduka bonna okugonderanga amateeka g’okunguudo basobole okwewala obubenje obw’engeri eno.
Concert ya Uncle Kaboggoza,''Girl Wange'' eyengedde