Ssaabalangira w’ekerezia Katolika Paapa Francis asabye abavubuka banna Kenya okuwuliziganyanga awamu n’okuteeseganyanga ng’abaana ab’enda ya Nnakalaama ng’ekkubo lyebayinza okuyitamu okugonjoola ebimu ku bizibu ebibatawanya omuli,okusosolagana mu mawanga,obulyake n’obukenuzi n’ebirala.Bwasisinkaye abavubuka bannaKenya mu kalasamayanzi k’olwa leero mu kisaawe kye Kasarani mu ggwanga lino,Paapa Francis abategeezezza nti ebimu ku bizibu ebisangwa abavubuka embulakalevu ng’obukenuzi bwebamulaajanidde nti bwagala kumalawo ggwanga lyabwe,tebuleeta bulamu wabula buleeta kufa kwereere na matongo.Paapa abavubuka abasabye beggyemu enjawukana n’entalo,baagalanenga,balwanise ssetaani n’ebikemobye ebibalemesa okutambulira mu kitangaala kya Katonda ate beesabirengannyo wakati mu kulwanyisa emize egitalina kalungi konna era bakoowoolenga omukama n’okutunuuliranga omusaalaba obutakoowa ate baagalanengannyo n’okusembezanga bannaabwe abayinike mu byonna.
Paapa asabye abakulembeze okujjumbira kulongoosanga eby’enjigiriza awamu n’okuwanga abavubuka emirimu kino kibatangire okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka ng’obutujju.Nga tannabasibirira ntanda eno abakulembera abavubuka mu ggwanga lino basoose kumulaajanira ebyo byebalaba ebibamalako egya Nnakakaawa nga mu bizibu bye bamulaajanidde mwatambulizza okubuulirirakwe.Omu ku bavubuka bano amulaajanidde n’ekizibu ky’enkyukyuka z’embeera y’obudde kyagambye nti kyandibateeka bonna mu matigga olw’emirimu gyebakola egisinga okuba nga gitambulira ku mbeera ya budde eno ng’ogw’obulimi n’obulunzi.
Gyebuvuddeko Omutukuvu Paapa Francis ategeezezza nti obugulanyi bw’eby’obusuubuzi ebitakkirizibwa mu mateeka ng’obw’amasanga g’enjovu n’eky’obugagga kya Diamond by’ebimu ku biyinza okuvaako n’obutonde bw’ensi omufumbekedde eby’obugagga ebingi okusaanawo.
Concert ya Uncle Kaboggoza,''Girl Wange'' eyengedde