Yyo kooti ewozesa abalyake esindise president wekibiina ekitwala omuzannyo gwokubaka muggwanga ekya Uganda Netball Federation Sarah Babirye Kityo ku alimanda, oluvannyuma lwokumusomera emisango gyokubulankanya ensimbi nokukozesa obubi woofiisiye.
Babirye alangibwa kukozesa bubi ensimbi obukadde186, era omulamuzi Christopher Opito y'amusomedde emisango gino kyokka n'agyegaana.
Oludda oluwaabi lugambanti wakati wa november ne Dec mu 2021, ono nebanne abalala abakyalyya obutaala baabulankanya ensimbi zino, nga balina ekigendererwa ekyokuzezza.
Ensimbi zino zaali ziweereddwayo National Council of Sports mu kwetegekera empaka za Africa ezaali ez'okuyindira e Namibia.
Kati ono waakudda mu kooti olunaku lw'enkya kooti lwenaatunula mu kusaba kwe okw'okweyimirirwa.
Sarah Babirye Kityo Asindikidwa ku limanda .