Ttiimu y’abakyala ey’eggwanga emanyiddwa nga She Cranes edduukiriddwa n’Obukadde bwa ssente za wano 100 okuva mu kampuni ya langi eya Plascon bazeeyambise mu nteekateeka z’olugendo lwe bagendako mu ggwanga lya South Africa.
She Cranes y’emu ku ttiimu ezaasunsulibwa okwetaba mu kikopo ky’omupiira gw’abakyala ogw’engalo ogw’ensi yonna ogugenda okuyindira mu kibuga Cape Town eky’eggwanga lya South Africa okutandika n’ennaku z’omwezi 28th omwezi guno ogw’Omusanvu.
Akulira abatendesi ba Ttiimu eno Omwami Fred Mugerwa agambye nti obugabirizi buno bujjidde mu kiseera kirungi era ebiruubirirwa byabwe nga ttiimu bya buwanguzi okuyita mu bibinja mwe bali.Mu kibinja D She Cranes mweri,yaakutandika ne Singapore ku lw’okutaano nga 28th,enkeera nga 29th eyambalagane ne News Zealand ate nga 30th bugyefuke ne Trinidad ne Tobago.
Mu balala abaavuddeyo okukwasizaako Ttiimu y'abakyala ey'eggwanga ye kkampuni y’eggwanga ey’ennyonyi eya Uganda Airlines eyeeyamye okusaabaza abazannyi b’eggwanga n’okubawaayo ssente eza buliwo.
Sarah Babirye Kityo Asindikidwa ku limanda .