Emisinde gy'abaana gitongozeddwa

Abaana nga betegekera emisinde.
Image: Yitanenti

Ssente ezinaava mu misinde gy’abaana egy’omwaka guno egya Kampala Kids Run zaakweyambisibwa mu kutuusa mazzi mu masomero ga Primary asatu mu district ye Bugiri.

Muslim Kiwanuka Kiziri omutandisi w’enteekateeka eno asinzidde mu kutongoza nteekateeka ya mwaka guno n’agamba nti emisinde egiteekebwateekebwa okubeerawo nga 7th omwezi ogujja wano mu Kampala baagala kugikunganyirizaamu Bukadde bwa ssente za wano amakumi 30 n’omusobyo bazeeyambise mu kugulira amasomero ago Ttanka z’amazzi.