TIIMU YA KCCA FC EYOGEREZA VICENT KAYIZZI .

KCCA FC eri mu kaweefube ow’okunoonya omusika wa Micheal Birungi abadde  omuwuwuttanyi waayo  gweyaguzizza Al-Khartoum Watani eye Sudan ku ndagaano ya myaka ebiri.

Vicent Kayizzi atemera mu gy’obukulu amakumi 31, eyatandikira omupiira  mu KCCA FC  mu mwaka 2003 azannyira mu Express FC eri mu Liigi ya Azam Uganda Premier League.

Omutendesi Sam Simbwa ng’ono ye mumyuka w’omutendesi wa KCCA FC agamba nti "Kayizzi muzannyi mulungi era olw’obumanyirivu bwalina ajja kuyamba nnyo club okuwangula ekikopo kya liigi sizoni eno".