FIFA EFULUMIZZA OLUKALALA LWABAGENDA OKUSALA EGYA 2016

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira munsi yonna ekya FIFA kiweerezza FUFA olukalala lwabagenda okusala emipiira gya 2016 amakumi abiri mu babiri nga bano be bagenda okulamula omupiira mumkwaka 2016 nga balina akabonero ka FIFA.

FUFA yabadde eweerezza olukalala lw’abantu amakumi 25 wabula FIFA n’ekkirizaako abiri mu babiri bokka(22).Ku bano kuliko abaami; nga Miiro Brian Nsubuga, Ssali Mashood, Muhabi Alex, Batte Denis ne Sabilla Chelangat Ali.

Abamyuka baabano kuliko;Ssonko Mark, Balikoowa Musa Ngobi, Okello Lee, Kayondo Samuel, Katenya Ronald ne Bugembe Hussein nga bano balamuzi ba muzannyo gwa Beach Soccer: Mugerwa Shafic, Kintu Ivan Bayige ne Ssenteza Muhammad.Abakyala kuliko;Ssemambo Aisha Nabikko, Namubiru Irene ne Akoyi Anna ng’abamyuka baabwe kuliko;Nakitto Marex Nkumbi, Nagaddya Catherine Cynthia, Mutonyi Jane,Nantabo Lydia Wanyama ne Atuhaire Docus.