Club ya Geofrey Massa eya Bloemfontein Celtic ekakasizza ng’abadde omutendesi waayo Clinton Larsen bwasuddewo omulimu gw’okutendeka club eno bunnambiro.Larsen yeegatta ku club eno mu December wa 2014 era nga club ebadde emaze emipiira mukaaga nga tewangula era nga kino kigambibwa nti kyekiwalirizza abadde omutendesi waayo okugisuulawo.
Akakiiko akaddukanya club eno kalangiridde Duncan Lachesa ne Lehlohonolo Seema ng’abatendesi baayo ab’ekiseera abazze mu bigere bya Larsen eranga bano beebagenda okubeera mumitambo gy’omupiira ogunaabaayo nga 18th omwezi ogwa December 2015 bwebanaaba bazannya ne Chippa United mu liigi y’eggwanga eya South Africa.
Geofery Massa yabeegattako ng’ava mu Pretoria Universty omwaka guno era mu mipiira kkumi nagumu y’akateeba ggoolo biri.
Clinton Larsen afuuse omutendesi ow’okuna okwabulira club ng’omutendesi mu Liigi y’eggwanga eye South Africa.
Sarah Babirye Kityo Asindikidwa ku limanda .