ABA GALZ SPORTS BETTING MU KAMAPALA BAGGADDWA

Ekibanda ekibadde kisibirwamu emipiira n’emizannyo emirala ekya Galz Sports Betting ku luguudo lwa Market Street mu Kampala poliisi mu Kampala ekiggadde ng’entabwe evudde ku kugezaako kulyazamanya ba Kaasitoma baabwe abazzenga bakisibiamu emipiira.

Tutegeezeddwa nti bano okubaggalawo kiddiridde ababaddenga bakisibiramu emipiira abawerako nebawangula obutasasulwanga nsimbi zaabwe abaddukidde mu b’obuyinza nga balaba embeera etandise okusajjuka.

Abamu ku bano abakukkulumye olw’obutasasulwa balina Tiket eziri wakati w’emitwalo omukaaga n’obukadde Obubiri n’ekitundu  abawerera ddala ng’abakungu ba Galz Sports Betting bazze babategeeza nti eno yali nsobi eyakolwa ebyuma byabwe byebagamba nti byalinamu obuzibu abantu bano bonna okuwangula nabano kyebagamba nti tebajja kukikkiriza.

Omu ku bano ategeerekese nga Zampo agambye nti ye kyayagala z’ensimbize zeyawangula obukadde amakumi 25 bwagamba nti bano teyabubateresa  ng’omuntu bwateresa Banka nga kale azeetaaga mu mbeera yonna.

Amyuka aduumira poliisi mu Kampala ey’obukiikaddyo Kahebwa Godfrey ategeezezza nti babadde tebasobola kulaba mbeera eno ng’eyongera okusajjuka nga balaba nebatabaggalawo era n’asaba abakulu abatwala ekibanda kino okulaba engeri gyebayinza okuyitamu okugonjoola ensonga eno mu bwangu.

Bana ku babadde baddukanya ettabi lino bakwatiddwa nebaggalirwa ku kitebe kya poliisi mu masekkati ga Kampala(CPS) nga n’okunonyereza mu nsonga eno bwekutoggyera.