Weewaawo ng’enkuba ensangi zino etonnya,bbeeyi y’emmere ekyali waggulu n’okusingira ddala amatooke.Mu butale bw’omu Kampala okuli Kaleerwe,Nakasero,Kibuye,Nateete,Busega,Kamwokya n’obulala enkota y’Ettooke eri wakati wa mitwalo ebiri n’ekitundu ku Musanvu.Eminwe gy’amatooke ena gya Ssiringi 1000/=,Muwogo Omunwe gumu oguweramu Omuzinzi gugula nnusu enkumi bbiri ku nnya,Omulengo gwa Lumonde ogutandikirwako gwa Nkumi ssatu okuggyako Kaceere wa Lumonde akalengo akatandikirwako ka nkumi bbiri.
Mu byalo enkota y’ettooke etandikirwako wansi ya Kanaana ate esembayo gy’otunuulira naawe n’otya ya mitwalo esatu ku esatu n’ekitundu,Ekiwagu ky’ettooke kya nkumi bbiri ku ssatu mu bitaano,Omulengo gwa Lumonde gwa nkumi nnya ng’awererera ddala,Endebe ya nkumi ttaano ku kasanvu,Muwogo ekikolo ku Musiri kya nkumi ttaano ate Omulengo gwa nkumi bbiri ng’awerera ddala,lindirira bbeeyi y’enva.
Bbeeyi Y'emmere.