Olw’abajulizi ba Uganda lusumuluddwa, ekerezia erutandiseeko

Essaza ly’Ekerezia Katolika erye Masaka litandise kaweefube w’enteekateeka z’olunaku lw’abajulizi olw’omwaka guno.Omusumba w’Essaza lino Omwepisikoopi Serverus Jjumba asinzidde Ssanje ekisangibwa mu ggombolola ye Kakuuto mu district ye Kyotera ku kiggwa ky’omulujizi Yowaana Maria Mzee Kiwanuka eyali omwana enzaalwa eruuyi eyo n’asaba abakirisitu b’essaza eryo okwefumintiriza ku Nneema gyebagenda okweyoolera mu kuteekateeka ebikujjuko by’olunaku lw’abajulizi ba Uganda nga bwe baalondebwa olukiiko lw’abeepisikoopi.

Omujulizi Yowaana Maria Mzee ebyafaayo biraga nti yazaalibwa wkati w’omwaka gwa 1852-1857 ku kyalo ekimanyiddwa nga Kisomberwa okumpi ddala n’ensalo ya Uganda ne Tanzania.Kitaffemukatonda Serverus Jjumba alaze obwennyamivu eri omuwendo gw’abagoberezi ba Kristo abaseerera buli lukya ne bava ku mulamwa eta ne bettanira amayisa ageeraliikiriza obuwangaazi bwabwe.

MUKOMYE OKULWANIRA EBYOBUGAGGA

Bya Zirimara Daudi

Abakiriza basongeddwamu olunwe okubeera abasale mukulemesa kawefube wokulwanyisa namujinga wenguzi muggwanga kubanga tebakoze mulimu gwabwe ogwokugoberera omukululo gwabajjulizi nga balwanyisa enguzi.

Bino byonna byebyolekedde mukubulira kwomulabirizi wobulabirizi bwe Nathan Gasatura owobulabirizi bwe Butare mu Rwanda abadde omubulizi omukulu kukiggwa kyabakulisitaayo e Nakiyanja nasaba abakulisitaayo obutanenya bakulembeze babwe kubuli bwenguzi obukute wansi ne waggulu  muggwanga wabula bafube nokulwanyisa omuzimu gwokusoosola mumawanga,okulwanirira ebyogugga,nebirala kubanga Uganda esinga amawanga amangi agasanaawo.

Omulabirizi Gasatura awanjagidde abakiriza buno okukozesa omusaayi gwabajjulizi abakulisitaayo 25 ogwayiika oikusobola okuzza obujja obulamu bwabwe nga basonyiwagana,obukomya obucaayi nebirala ebitali bya katonda ebyeyolekera bulamu bwabwe kkko nabaganda okwenyumiriza mubajjulizi bano nga bakomya okulwanirira ettaka kubanga ggwanga lyabyafaayo nyo mudiini.

Okusaba kwomwaka guno kukulembeddwamu obulabirizi bwe Namirembe wansi womulamwa ogugamba nti Abajjulizi tebafiira mubulumi nga gwajjiddwa mubbaluwa Paulo omutume gyewandikira aba Philipino esula esooka akanyiriri akokubiri.

Okusaba kuno era kukulembeddwamu Stanley Ntagali ssabalabirizi wekanisa ya Ugand nomulabirizi we Namirembe Kityo Luwalira.

NAMUGONGO AWUUMA

Okutendereza kukiggwea kyabajjulizi ekya abakulisitayao e Nakiyanja kutandiise era nga kukulembeddwamu ssabalabirizi wekanisa ya Uganda Rt Rev Stanley Ntagaali nabalabirizi abalala .

Okusaba kuno kutegekeddwa obulabirizi bwe Namirembe era okusaba mukiseera kugenda mumaaso nga wowulira era osomo eryokubiri lisomeddwaomulabirizi wa West Buganda Dr. Katumba Tamale.

Ngo okusaba kugenda mumaaso kubigwa byabajulizi e Namugongo enkya yaleero poliisi eriko abantu abasoba 30 bekutte kumisango egyenjawulo omuli obubbi nebirala mukikwekweto kyekoze okukuma emirembe kubigwa byabajjulizi bano.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO- Abajulizi ba Uganda

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Nagawonye Olw’okutaano,ennaku z’omwezi ziri 2nd omwezi guno ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Ennono z’akawaayiro kaffe kano ziri nti bwewabaawo ekikulu ekigenda mu maaso mu ggwanga wonna tukyusa obwanga netujjukiza abantu ku bikijjukirwako.

Ennaku zino zonna mu mawulire gaffe tuzze twogera ku balamazi abaava yonna gyebaava nga bajja e Namugongo ku biggwa by’abajulizi ba Uganda abamanyiddwa okwetooloola ensi yonna.

Bano battibwa Omumbowa Mukaajanga eyali ow’embazuulu ennyo ku Myanga/mu kiseera Ssekabaka Mwanga II weyafugira Obuganda.

Abajulizi bonna abattibwa abakatoliki n’abakulisitaayo bali amakumi 45 nga battirwa wakati w’emyaka 1885-1887 ng’abaasookera ddala okuttibwa kwaliko Kakumba Makko eyali y’eddira effumbe,Rugarama Ysufu eyali Omunankole ne Ssrerwanga Nuuwa bano yattibwa nga 31st ogw’olubereberye 1885, abattirwa e Busega nebasembayo okutta Yoana Maria Muzeeyi eyali yeddira e Mbogo nga 27th ogw’olubereberye 1887.

Nga 3rd omwezi guno ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga omwaka gwa 1886 lwerunaku olwasinga okuttirwako abajulizi bano abangi era y’ensonga lwaki lwerumanyiddwa era nerukuzibwa ng’olunaku lw’abajulizi ba Uganda olutongole.

Abajulizi amakumi 26 be baaluttirwako.

OMULAMAZI ABADDE OMUZITO OLUGENDO LUMUSSE

Omulamazi abadde omuzito afiiridde ku Ekerezia ya St Francis Of Assisi e Matugga w’abadde awummuliddemu.Atusakira ag’omu ttundutundu lino Ssebuliba Ezra atutegeezezza nti ono ye Molo Scovia abadde atemera mu gy’obukulu amakumi 23 ng’abadde yava Moroto County mu Alebtong ng’abadde alamagira mu kibinja ekyakulemberwamu omubaka Samuel Okwi ow’essaza eryo.

Ono atutegeezezza nti omulambo guggyiddwawo poliisi negutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago abasawo bakole ogwabwe.

NAMUGONGO ATANDISE OKUBOOGA

Ebikumi n’ebikumi by’abalamazi buli ssaawa byeyiwa ku biggwa by’abajulizi e Namugongo nga n’abalamazi baffe betuzze tulamaga nabo okuva e Bushenyi ku kigo kya St.Kaggwa ekisula ky’olwa leero bakikwatidde Namugongo era embeera yaabwe ssimbi.

Hellen Kaamasanyu omu kubo twogedde naye n’atutegeeza nti ne nnamukadde ow’emyaka 96 Beenaado Tiibyange atuuse bulungi e Namugongo era talina buzibu bwonna ng’eggulo lya leero lwebatandika Nooveena egenda okumala ennaku omwenda.Ono era atutegeezezza nti abakkiriza beeyongeredde ddala ku biggwa byombi nga buli ali waali yeegayirira abajulizi ba Uganda okumubeera.

ABALAMAZI BALABUDDWA KU NKOZESA Y’ENGUUDO

Ebitongole bya poliisi eby’enjawulo nga bikwataganidde wamu birangiridde enteekateeka z’okukuuma abalamazi abagenda ku biggwa by’abajulizi ba Uganda e Namugongo wakati mu kweteekerateekera olunaku lw’abajulizi olwa nga 3rd omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga ogujja.

Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi eyungudde basajja baayo ab’enjawulo n’ebayiwa ku biggwa bino ne ku mwasanjala ez’enjawulo ezidda e Namugongo n’okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo abalamazi gyebali ku makubo nga boolrkrdde Namugongo.

Enanga agamba nti abalamazi basabiddwa okutambulira ku luuyi lw’amakubo lumu baleme kutataaganya ntambula ate baleme kutomerwa n’abatuuse e Namugongo n’abasaba bakuume bulungi ebyabwe baleme kukaabira mu lwayaba.

Ono ategeezezza nti basuubira abantu abawerera ddala ku biggwa bino mu kaseera mpa we kaaga.

 

OMULAMAZI OW’EMYAKA 97 ASUZE NNAMUGONGO

Mu bibinja by’abalamazi enkumi n’enkumi ebiri mu makubo ne mwasanjala zonna mu ggwanga nga batambula beeyuna ekiggwa ky’abajulizi ba Uganda e Namugongo kwegattiddwako bannaabwe abalala amakumi 27 abasimbudde ku kigo kya St Kaggwa e Bushenyi nebayeekera engere nga wetwogerera baluubirira kutuuka Biharwe mu Mbarara.

Omu ku balamazi bano gwetwogeddeko naye Bangirana Richard atutegeezezza nti baakutambula misana na kiro ate mu bwangu balabe ng’olunaku lw’abajulizi lubasanga bataka e Namugongo.Ono agamba nti mu kibinja kyabwe abasingamu obukulu atemera mu myaka egy’obukulu kinaana.

Bo bannaabwe era abaasimbula okuva ku kigo kye kimu gyebuvuddeko era betuzze tutambula nabo bataka mu Kampala nga wetwogereddeko nabo babadde ku kiggwa kya Mujulizi Balikuddembe wano wansi mu Owino webayitidde basabe ku mujulizi ono nga bagamba nti leero balina obukakafu nga baakusula ku kiggwa Namugongo k’etonnye ka gwake.

Mu bano twogedde ne Kaamasanyu Hellen. Kaamasanyu atutegeezezza nti Nnamukadde Berenaado Tiibyange ow’emyaka 97 gwebaasimbula naye e Bushenyi akyali mumbeera nnungi nti era musanyufu okulaba nga leero waakusula mu kiggwa kya Bajulizi e Namugongo.


PHOTO: www.monitor.co.ug