CENTRAL AFRICAN REPUBLIC ETIDDENNYO KONY

Abeepisikoopi mu ekerezia Katolika mu ggwanga lya Central African Republic balaze obweraliikirivu nti eggwanga lyabwe lyandiremererwa okutuula ku nfeete abayeekera ba Lord’s Resistance Army abaaduumirwanga Mawale Kony abattukiza ennumba zaabwe mu ggwanga lino nate.

Kinajjukirwa nti bakafulu mu kufeffetta abayeekera ggye ly’eggwanga erya UPDF nga bawanirwako bannaabwe okuva mu ggwanga lya America beesoggadda Central African Republic n’ekigendererwa ekiyiga basajja ba Kony bano ne Kony kennyini wabula musajja wa Katonda Omwepisikoopi Nestor Desire Nongo Aziagbia agamba nti embeera efuukidde ddala ya lukonvuba abayeekera bano bakyagendera ddala mu maaso n’okulumba ebyalo nga babiteekera omulimu awamu n’okuwamba bassaalumanya.

KONY ASITUDDE ENKUNDI MU CENTRAL AFRICAN REPUBLIC

Omwepisikoopi omu mu ggwanga lya Central African Republic alabudde ku kwezza obuggya kw’abayeekera ba Lord’s Resistance Army abaaduumirwanga Mawale Yosefu Kony.Omwepisikoopi ono ow’ekerezia Katolika Kitaffemukatonda Nestor Desire Nongo-Aziagbia ategeezezza nti abayeekera bano baliko ekigo ky’abaminsani ekisangibwa mu Ssaza ly’ekerezia erye Bangassou kyebaalumbye nebalirika emigobante abakiristu n’ababiikira Bannansi ba Latin America bebaakisanzeemu n’oluvannyuma nebababbako ensimbi,emmere n’eddagala lyabwe.