Abalenzi bayitidde waggulu mu bya senior ey’okuna

Bya Kizindo Lule

Abaana ab’obulenzi basingidde wala bannyinaabwe ab’obuwala mu bigezo ebyava mu by’akamalirizo ebya senior ey’okuna ebyatuulwa omwaka oguwedde.Bw’abadde afulumya amakungula gano Ssaabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga UNEB Dan Nocrach Odong ategeezezza nti abayizi ab’obuwala omulundi guno tebibatambulidde bulungi n’okusingira ddala mu masomo ga Ssaayansi.

Odong ategeezezza nti wabula omulundi guno omuwendo gw’abaana b’obuwala gweyongedde bwogeraageranya n’emyaka egiwedde.Mu masomo agakoleddwa obulungi Dan Odong ategeezezza nti mubaddemu essomo lya Biology,erya Geography,okukuba n’okusiiga ebifaananyi n’amalala.Odong ategeezezza nti omuwendo gw’abaana abaliko obulemu ku mibiri abakoze obulungi mu bigezo bino gweyongeredde ddala bwobageraageranya n’abaliko obulemu abazzenga babituula.

Bwakwasiddwa ebyavudde mu bigezo bino Minister w’eby’enjigiriza Janet Kataaha M7 asanyukidde eky’emiwendo gy’abaana abawala okweyongera ku madaala g’eby’enjigiriza aga waggulu era n’abasaba awamu n’abazadde okubakwasizangako beeyongerere ddala waggulu.

Agamu ku masomero agasuubirira waggulu ebyavudde mu bigezo by’abaana baago wano mu Kampala n’emiriraano n’ebitundu by’eggwanga ebirala mulimu,Makerere College Sch,Mengo SS,Kabowa High School mu ggombolola ye Lubaga mu Kampala,Nabisunsa Girls Sch,St Matiya Mulumba Kkungu-Kyanja,Gayaza High School,Kittante SS,Kapeeka High Standard mu Nakaseke n’amalala ng’abasasi baffe bwe bagatuuseeko basanze abayizi balindirira byansusso amakungula gaabwe

Eyakulira ku lukiiko lwa UNEB akaaye ku bya PLE

Ng’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga kiteekateeka okufulumya ebyava mu bigezo by’abaana abaatuula ekibiina eky’omusanvu omwaka ogwaggwa olunaku lw’enkya,eyaliko Ssentebe w’ekitongole ekyo Kakensa Lutalo Bbosa y’omu ku bannayuganda ab’ensonga abatasanyukidde kya kubifulumiza mu ssomero lya bwannannyini.

Lutalo Bbosa agamba nti ssi kyabwenkanya kufulumiza byava mu bigezo bya baana ba ggwanga bino mu kifo ekimu ku ebyo ebigenda okuweebwa ebinaavaamu ate eky’obwannannyini nga Gov’t erina ebifo ebirala bingi ebitalina lubege gyeyaalikwasiriziddwa ebinaavaamu kyagambye nti kimenyewo ebyafaayo by’empeereza z’ekitongole ky’ebigezo.

Kinajjukirwa nti ekitongole kino ekya UNEB awamu ne ministry y’eby’enjigiriza ekitwala byategeeza eggwanga nga bwebinaafulumya ebyava mu bigezo by’abaana ebyo nga basinziira ku ssomero lya Kampala Parents PS.Ssekamwa w’ekitongole kino Jennifer Katumba ategeezezza nti bo nga UNEB tebaalina mukono mu kusalawo kuno bo baategeeza ministry y’eby’enjigiriza nga bwe bamalirizza egyabwe ministry n’ebategeeza gyebinaafulumizibwa.

PAASITA EYAFERA EZA UNEB AKWATIDDWA

Abatwala eby’enjigiriza mu district ye Jinja baliko omusumba w’ekkanisa y’abalokole gwebatadde emabega w’emitayimbwa lwabigambibwa nti aliko abazadde b’essomero lya St Charles Njeru PS beyafera akakadde kalamba n’emitwalo nkaaga ng’abasuubizza okubawandiisiriza abaana baabwe ab’ekibiina eky’omusanvu omwaka guno mu kitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB ekintu kyebaakamanya nti teyakikola.

Ono ategeerekesenga Pastor Robert Nyonyintono asumba ekkanisa ya Voice of Life mu Town Council ye Njeru abazadde yabasuubiziza okubayamba abawandiise n’essomero lya Jinja SDA eririna Centre y’ebigezo wamma nabo nebamanya nti bafunye omuyambi.Okukwatibwakwe kiddiridde abazadde okutegeezewa nti abaana baabwe tebajja kutuula bigezo bya kamalirizo engeri Pastor gyataasasula nga bweyali yeeyamye.Atwala eby’enjigiriza e Jinja Amina Mutesi y’akutte omusumba ono n’amukwasa poliisi naye etandikiddewo egyayo.

ABALENZI BALEEBEESEZZA BANNYINAABWE MU PLE AFULUMYE

Abaana ab’obuwala basinze bannyinaabwe ab’obulenzi mu ssomo ly’olungereza sso ne ba Nnaatuukirira ab’obulenzi nebeeriisa nkuuli mu masomo amalala agasigadde gonna mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu eby’omwaka oguwedde ebifulumiziddwa olwa leero.

Abayizi baasinze kuyita ssomo lya Lungereza nebazzaako ery’ebyafaayo n’eby’eddiini erimanyiddwa nga SST,eby’obulamu erimanyiddwa nga Science neriddirira olwo okubala nekukoobera.

Bwayogeddeko eri bannamawulire ng’akwasa minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo ebyavudde mu bigezo by’abaana abaakola eky’omusanvu omwaka oguwedde,Ssentebe w’ekitongole kya UNEB Kakensa Mary Okwakol ategeezezza nti okutwaliza awamu omwaka ogwo ebigezo tebyabbibwa wabula waliwo okuyambibwa okwenjawulo okwaweebwa abayizi abamu ssonga n’abandi baakolrerwa ebigezo.

Ate ye Ssaabawandiisi w’ekitongole kino Mathew Bukenya ategeezezza nti ku bayizi abeewandiisa okutuula ebigezo bino emitwalo enkaaga mw’ebiri mu olunaana mu abairi mu abataano (620,825) ebitundu 77% baali mu nkola ya bonnabasome olwo bannaabwe ebitundu amakumi 23% nebabeera mu nkola y’okwesasulira kalonda yenna.

Bukenya era ategeezezza nti abayizi abaatuula omwaka oguwedde basinzeeko bannaabwe ab’omwaka ogwaggwa mu kuyita obulungi ne mu bungi ng’abayizi emitwalo amakumi 517,895 be bayise bwobageraageranya ne bannaabwe emitwalo amakumi 516,860 ab’omwaka guli 2014.

Byo ebigezo by’abayizi 909 bikwatiddwa nga byolese okubaamu engalo za kibbabigezo era nga bano okubibawa Bukenya ategeezezza nti baakuweebwa akadde buli kinnoomu bawulirizibwe ng’abanaasangwa nga ddala benyigira mu kubba byakusazibwamu.

Bo abayizi abaatuula ebigezo bino okwetooloola eggwanga lyonna emitima gibakubira ku mitwe ng’eyabuulira ow’olugambo nga beeraliikirira nti ssikulwa ng’ebimu ku bikwatiddwa mwandibaamu ebyabwe.

Wabula nga bwebaalugera nti agamyuka omutezi n’akasolo,n’abazadde b’abaana bano abalindirira ebigezo byabwe nabo bangi betuwuliziganyizzaako nabo n’ey’okuvvi tekyasaka era bangi balabiddwako nga bateekateeka amasimu gaabwe ag’omungalo nga balindirira kirangiriro nti ebyavudde mu bigezo by’abaana baabwe bituuse ku mutimbagano olwo batandike okusindika obubaka bategeere amakungula gaabwe nga bweguzze gubeera.

Bo abakulu b’amasomero ag’enjawulo abalindirira ebyavudde mu bigezo by’abaana baabwe nabo batandise okubinaanika engatto boolekere ekitebe ky’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga wano e Ntinda ku nkingizzi z’ekibuga Kampala gyebasuubirwa okunona amakungula g’abaana baabwe eggulo lya leero.


Photo Credit: news.ugo.co.ug

PLE AFULUMA LEERO,BASINZE KU B’OMWAKA OGUWEDDE

Ebigezo by’abaana abaatuula eky’omusanvu omwaka oguwedde leero lwebifulumizibwa mu butongole nga byakukwasibwa minister w’eby’enjigiriza,amagezi ag’ekikugu n’eby’emizannyo ku ssaawa ttaano ku woofiisi ya Ssaabaminister w’eggwanga olwa leero.

Hamis Kaheru Ssekamwa w’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB ategeezezza nti emitendera gyonna egy’okukebera n’okwetegereza ebyava mu bigezo bino baabimalirizadda ng’ekibadde kibulayo y’enteekateeka ya minister ow’eby’enjigiriza n’emizannyo Jesca Alupo okutegeeza abakungu bano ddi lwabadde anaafuna obudde ebyavaamu bino bimukwasibwe era olwa leero lweyabakakasa nga byakumukwasibwa mu budde bw’akalasamayanzi ku ttaano olwa leero.

Kinajjukirwa nti abayizi emitwalo 621,454 be baatuula ebigezo bino mu centre 7864 ng’abayizi abaali mu nkola eya bonnabasome baali emitwalo amakumi ana mu musanvu mu kanaana mu bitaano mu kyenda mu omu ssonga bannaabwe abataali wansi wa nkola eno baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi bbiri mu lunaana mu nkaaga mu basatu nga baabituula ng’ennaku z’omwezi 2nd ne 3rd omwezi ogwa Museenene ogw’ekkumi n’ogumu nga baatandika na kubala nebazzaako essomo lya SST ery’ebyafaayo n’eddiini ate enkeera nebaddamu ery’eby’obulamu n’olulimi olungereza.


Photo Credit: www.theinsider.ug