Batemyeko omulwadde omutwe mu ddwaliro

Bya Robert Segawa

Poliisi e Ntoroko eriko abasajja bana beekutte n’eggalira ku bigambibwa nti baalumbye omulwadde ku kitanda mu ddwaliro lye Karugutu Health Center IV nebamutemako omutwe.

Ssekamwa wa poliisi mu Bugwanjuba bw’ensozi za Rwenzori Lydia Tumushabe ategeezezza nti abatuuze bano okuva mu kyalo kye Rwangoro mu ggombolola ye Kanaro baalumbye eddwaliro ne bagwikiriza omulwadde Francis Wathutu ne bamutemerako omutwe ku kitanda nga bamulanga bulogo.

Attiddwa musuubuzi wa byannyanja munnansi wa Congo nga naye abadde mutuuze ku kyalo ekyo.

Tumushabe agamba nti omuntu ateeberezebwa okuba nga ye yabatumye bamuttire Wathutu gwalanga okumuttira mugandawe Ebyayi yabinnyise mu nsuwa ng’essaawa eno awenjezebwa.

Basoose kubeekakaatikako ne babatta

Poliisi wano mu Kampala nawo enonyererza ku ngeri abaaliko abayizi mu Ssettendekero wa East African University e Kansanga gyebattiriddwamu mu kazigo wano e Kakeeka Mmengo emmanju wa Ssettendekero wa Buganda owa Buganda Royal Institute.Ssekamwa wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire ategeezezza nti bano kuliko Njiba Hudah ow’emyaka 23 ne munne etegeerekeseeko erya Safina lyokka.

Owoyesigire agamba nti mu kasenge omwasangiddwa emirambo mubaddemu obupiira bu Kalimpitawa obukozeseddwa ekiraga nti abaabasse baasoose kubeekakaatikako ate omulambo ogumu ne gusangibwa n’akambe mu ngalo ekiraga nti waabaddewo okulwanagana.Ono agamba nti ab’oluganda lw’omu ku bawala bano baali beekubira dda enduulu gye bali e Ntebe olw’omwana waabwe eyali abuziddwawo.

Poliisi e Kisoro ewenja bawambye mulimi

Poliisi e Kisoro etandise okunonyereza ku bigambibwa nti omulimi ow’erinnya eruuyi eyo yawambiddwa n’abuzibwawo Bamukwatammundu okuva mu ggwanga lya DRCongo. Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Kigezi Elly Maate ategeezezza nti omuwambe ye Mbeta Isaya omutuuze we Munyaga ekisangibwa mu kabuga ke Butogota e Kannungu.

Ono agamba nti yawambiddwajjo bweyaggyiddwa mu nnimiro abasajja abaabadde babagalidde Omugemerawala n’oluvannyuma ne batandika okumusaba Kantanyi wa Bukadde Bubiri balyoke bamute.Matte ategeezezza nti bakola kyonna ekisoboka okulaba nga bamununula.

POLIISI EKKIRIZZA OKUKWATA ABABAKA MU ARUA

Poliisi mu Arua ekakasizza okukwatibwa kw’ababaka abawerako ku luuyi oluwabula Gavumenti mu lukiiko lw’eggwanga olukulu embeera bweyayonoonese akawungeezi akayise Kabwejungira Museveni bweyagwisanyizza obwenyi n’abali ku luuyi olwo abawagira Kassiano Wadri azze ku bwannamunigina ku bubaka bwa Munisipaali eyo.

Aduumira poliisi mu ttundutundu eryo Jonathan Musinguzi ategeezezza nti weewaawo Wadri be baamukutte n’ababaka baatannayasanguza mannya wabula Bobi Wine tebamulina.Byo eby’okwerinda eruuyi eyo bikyayongerwamu ebirungo olw’akalulu akasuubirwa olunaku lw’enkya okuba aka kanaayokya ani.

POLIISI EZZE E KAYUNGA OKUZIIKULA EBISIGALIRA MU SSABO

Eby’okwerinda bya manyinnyo ku kyalo Kisoga ekisangibwa mu district ye Kayunga  nga poliisi eyongera okusima n’okuziikula emirambo gy’abantu abagambibwa okuziikwa abavubuka abeeyita abasawo ab’ekinnansi.Omu ku batuuze ku kyalo ekiriraanye kino Kabuuka James atubuulidde.

Ono atuteezezza nti abasinga ku bantu abeekuluumuludde ne beeyiwa wano baliko abantu baabwe abaababulako ng’obolyawo babasuubira okuba nga be bamu ku baaziikibwawo.Ono agamba nti balindirira kalakita ggunduuza etandike ogwayo.

POLIISI EBULONZE N’ABATUUZE

Wabaddewo vvaawompitewo,enkalu okukalambira,okweyambisa omukka ogubalagala n’okusasira amasasi mu bbanga Poliisi ye Ssanga mu Wakiso bwebadde egezaako okutangira obumenyi bw’amateeka abatuuze bwebatanudde okukoona n’okwonoona ebintu bya Hussein Katamba agambibwa okukuba Ssekyanzi omugoba wa Boda boda ennyondo ku mutwe n’ekigendererwa ekimutta n’okugimubbako.

Agatusakira mu kitundu kino Ssebuliba Ezra atutegeezezza nti Katamba oluvannyuma lw’okumanya nti gweyakubye akatayimbwa teyafudde n’agenda mu dwaliro ly’amagye e Bombo amuwe obutwa afe eby’embi n’akwatirwayo,wetwogerera ng’abasibe abatemu ababiri bali ku poliisi e Kasangati nga n’olutalo lw’okutaasa ebyabwe poliisi lugiremeredde nebabiteekera omuliro.

POLIISI EYODDE ABABADDE BABBA MU KAMPALA

Poliisi eriko abatamanyangamba amakumi 50 ababadde bagufudde omugano okusuza bannakampala ku tebuukye beeyodde mu kikwekweto ekituumiddwa Gumisha Usalama Kampala n’emiriraano.

Aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa ategeezeza nti baliko n’ebizibiti ebiwerako omuli emmundu ya Basitoola,amasasi,obwambe,amajambiya n’emmotoka.

Mwesigwa agamba nti balina n’abantu 15 ababaddenga bagenda basuula ebibaluuwa ebyewerera okutta abantu be bakutte.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

POLIISI EYATUDDE, BANNABYABUFUZI BATABUDDE EDDEMBE

Ssaabaduumizi wa poliisi ya kuno Gen Kale Kayihura ategeezezza nti bakizudde nga waliwo bannabyabufuzi abali emabega w’ettemu n’okuteeka bannayuganda ku bunkenke ebigenda mu maaso mu ggwanga.

Ono asinzidde ku poliisi e Katwe bwabadde ayogera ku butebenkevu mu ggwanga obuli yegeyege.Kayihura agamba nti kyaliba ng’ekiruubirirwa ky’abannabyabufuzi bano kwekyaya bannayuganda ng’aliko n’abateeberezebwa okuba emabega w’enteekateeka zino amakumi 20 b’asimbye mu maaso ga bannamawulire.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

POLIISI EBALUNZE OMUKKA OGUBALAGALA KU MMERE

Poliisi erunze omukka ogubalagala mu bataka e Katakwi ababadde bakungaanye okwefunira ak’okuzza eri omumwa bannakibiina kya FDC ke babadde babatwalidde.

Bannakibiina kino nga bakulembeddwamu Ret Col Dr Kiiza Besigye babadde batwalidde abataka bano emmere oluvannyuma lw’okulaajanira abagirakisa babajune ku njala ebakalangidde emyezi egiweze.

Bano bategeezeddwa nti obuyambi obw’engeri eno buteekeddwa kutuusibwa Gov’t eri abataka nga bayita mu ministry y’ebibamba ebigwabitalaze.

Photo Credit: Amnesty International

POLIISI ERABUDDE KU BATUJJU N’ABABBI MU NNAKU ENKULU

Poliisi esabye bannayuganda okukolaganira awamu nayo mu kaweefube gweriko ow’okubakuuma obulungi n’ebyabwe mu kiseera kino eky’ennaku enkulu kyetwolekedde.

Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategeezezza nti emitendera eginaayitwamu okukuba ebiriroliro essaawa yonna gyakufulumizibwa era n’asaba bannannyini bifo byonna ebisanyukirwamu obuteerabira nti mu biseera by’amasanyu n’abatujju mwebaagalira okulumiza eggwanga.

Kaweesi asabye abasuubuzi baleme kutambulanga na butitimbe bwansimbi.Ono y’omu akakasizza nti emirimu mu bitundu bye Kasese kati gitambula kinnawadda oluvannyuma lw’okulinnya kunfeete abakuumi b’Omusinga b’agambye nti baali baagala kwefuula Mawale nga zino ensozi z’omu Bulemeezi nti ate abaakwatibwa 137 omu kubo yafiiridde mu ddwaliro wabula banne enkuyege bezikyakubira enduulu 136 baakusimbwa mu mbuga z’amateeka bavunaanwe.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo