Abawala beeyongeddeko mu bungi mu by’eky’omusanvu

Abayizi emitwalo mukaaga mu kenda mu bibiri ana mu basatu be bayitidde mu ddala erisooka mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebifulumiziddwa olwa leero ku bayizi abaabituula bonna awamu emitwalo 695,804.Bw’abadde afulumya ebyavudde mu bigezo by’omwaka ogwo Ssaabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo Dan Norchrach Odong ategeezezza nti abayizi emitwalo asatu mu gumu mu kanaana mu kikumi ataano mu bataano bayitidde mu ddaala lyakubiri ate bannaabwe emitwalo mukaaga ne bagwira ddala.

Dan Nochrach Odong ategeezezza nti omuwendo gw’abayizi ab’obuwala n’omwaka guno bwobageraageranya ne bannyinaabwe ab’obulenzi gweyongeddeko ng’ebitundu 51.7% babadde baana ba buwala ng’ate bano ebitundu amakumi 41.3% baalina obulemu ku mibiri gyabwe.

Bwayogereddeko mu kufulumya ebigezo bye bimu,minister omubeezi ow’eby’enjigiriza Rosemary Ssenninde alaze obwennyamivu eri omuwendo gw’abasomesa abamu ku beeyambisibwa okukuuma ebigezo bino ebifulumiziddwa leero abawerako okuba nga tebasasulwanga nsako zaabwe ze baabikuumira era n’anenya n’abatwala eby’enjigiriza ku district wansi okukkiriza abakulu b’amasomero agamu okwerondera abakuuma abaana baabwe mu bigezo.Minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha M7 asiimyemu ak’ensusso abazadde n’abasomesa olw’omuwendo gw’abaana ab’obuwala okweyongera mwaka ku mwaka era n’awera okugendera ddala mu maaso n’okukomeza ddala ekibbabigezo.

Eyakulira ku lukiiko lwa UNEB akaaye ku bya PLE

Ng’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga kiteekateeka okufulumya ebyava mu bigezo by’abaana abaatuula ekibiina eky’omusanvu omwaka ogwaggwa olunaku lw’enkya,eyaliko Ssentebe w’ekitongole ekyo Kakensa Lutalo Bbosa y’omu ku bannayuganda ab’ensonga abatasanyukidde kya kubifulumiza mu ssomero lya bwannannyini.

Lutalo Bbosa agamba nti ssi kyabwenkanya kufulumiza byava mu bigezo bya baana ba ggwanga bino mu kifo ekimu ku ebyo ebigenda okuweebwa ebinaavaamu ate eky’obwannannyini nga Gov’t erina ebifo ebirala bingi ebitalina lubege gyeyaalikwasiriziddwa ebinaavaamu kyagambye nti kimenyewo ebyafaayo by’empeereza z’ekitongole ky’ebigezo.

Kinajjukirwa nti ekitongole kino ekya UNEB awamu ne ministry y’eby’enjigiriza ekitwala byategeeza eggwanga nga bwebinaafulumya ebyava mu bigezo by’abaana ebyo nga basinziira ku ssomero lya Kampala Parents PS.Ssekamwa w’ekitongole kino Jennifer Katumba ategeezezza nti bo nga UNEB tebaalina mukono mu kusalawo kuno bo baategeeza ministry y’eby’enjigiriza nga bwe bamalirizza egyabwe ministry n’ebategeeza gyebinaafulumizibwa.

ABALENZI BALEEBEESEZZA BANNYINAABWE MU PLE AFULUMYE

Abaana ab’obuwala basinze bannyinaabwe ab’obulenzi mu ssomo ly’olungereza sso ne ba Nnaatuukirira ab’obulenzi nebeeriisa nkuuli mu masomo amalala agasigadde gonna mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu eby’omwaka oguwedde ebifulumiziddwa olwa leero.

Abayizi baasinze kuyita ssomo lya Lungereza nebazzaako ery’ebyafaayo n’eby’eddiini erimanyiddwa nga SST,eby’obulamu erimanyiddwa nga Science neriddirira olwo okubala nekukoobera.

Bwayogeddeko eri bannamawulire ng’akwasa minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo ebyavudde mu bigezo by’abaana abaakola eky’omusanvu omwaka oguwedde,Ssentebe w’ekitongole kya UNEB Kakensa Mary Okwakol ategeezezza nti okutwaliza awamu omwaka ogwo ebigezo tebyabbibwa wabula waliwo okuyambibwa okwenjawulo okwaweebwa abayizi abamu ssonga n’abandi baakolrerwa ebigezo.

Ate ye Ssaabawandiisi w’ekitongole kino Mathew Bukenya ategeezezza nti ku bayizi abeewandiisa okutuula ebigezo bino emitwalo enkaaga mw’ebiri mu olunaana mu abairi mu abataano (620,825) ebitundu 77% baali mu nkola ya bonnabasome olwo bannaabwe ebitundu amakumi 23% nebabeera mu nkola y’okwesasulira kalonda yenna.

Bukenya era ategeezezza nti abayizi abaatuula omwaka oguwedde basinzeeko bannaabwe ab’omwaka ogwaggwa mu kuyita obulungi ne mu bungi ng’abayizi emitwalo amakumi 517,895 be bayise bwobageraageranya ne bannaabwe emitwalo amakumi 516,860 ab’omwaka guli 2014.

Byo ebigezo by’abayizi 909 bikwatiddwa nga byolese okubaamu engalo za kibbabigezo era nga bano okubibawa Bukenya ategeezezza nti baakuweebwa akadde buli kinnoomu bawulirizibwe ng’abanaasangwa nga ddala benyigira mu kubba byakusazibwamu.

Bo abayizi abaatuula ebigezo bino okwetooloola eggwanga lyonna emitima gibakubira ku mitwe ng’eyabuulira ow’olugambo nga beeraliikirira nti ssikulwa ng’ebimu ku bikwatiddwa mwandibaamu ebyabwe.

Wabula nga bwebaalugera nti agamyuka omutezi n’akasolo,n’abazadde b’abaana bano abalindirira ebigezo byabwe nabo bangi betuwuliziganyizzaako nabo n’ey’okuvvi tekyasaka era bangi balabiddwako nga bateekateeka amasimu gaabwe ag’omungalo nga balindirira kirangiriro nti ebyavudde mu bigezo by’abaana baabwe bituuse ku mutimbagano olwo batandike okusindika obubaka bategeere amakungula gaabwe nga bweguzze gubeera.

Bo abakulu b’amasomero ag’enjawulo abalindirira ebyavudde mu bigezo by’abaana baabwe nabo batandise okubinaanika engatto boolekere ekitebe ky’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga wano e Ntinda ku nkingizzi z’ekibuga Kampala gyebasuubirwa okunona amakungula g’abaana baabwe eggulo lya leero.


Photo Credit: news.ugo.co.ug

PLE AFULUMA LEERO,BASINZE KU B’OMWAKA OGUWEDDE

Ebigezo by’abaana abaatuula eky’omusanvu omwaka oguwedde leero lwebifulumizibwa mu butongole nga byakukwasibwa minister w’eby’enjigiriza,amagezi ag’ekikugu n’eby’emizannyo ku ssaawa ttaano ku woofiisi ya Ssaabaminister w’eggwanga olwa leero.

Hamis Kaheru Ssekamwa w’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB ategeezezza nti emitendera gyonna egy’okukebera n’okwetegereza ebyava mu bigezo bino baabimalirizadda ng’ekibadde kibulayo y’enteekateeka ya minister ow’eby’enjigiriza n’emizannyo Jesca Alupo okutegeeza abakungu bano ddi lwabadde anaafuna obudde ebyavaamu bino bimukwasibwe era olwa leero lweyabakakasa nga byakumukwasibwa mu budde bw’akalasamayanzi ku ttaano olwa leero.

Kinajjukirwa nti abayizi emitwalo 621,454 be baatuula ebigezo bino mu centre 7864 ng’abayizi abaali mu nkola eya bonnabasome baali emitwalo amakumi ana mu musanvu mu kanaana mu bitaano mu kyenda mu omu ssonga bannaabwe abataali wansi wa nkola eno baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi bbiri mu lunaana mu nkaaga mu basatu nga baabituula ng’ennaku z’omwezi 2nd ne 3rd omwezi ogwa Museenene ogw’ekkumi n’ogumu nga baatandika na kubala nebazzaako essomo lya SST ery’ebyafaayo n’eddiini ate enkeera nebaddamu ery’eby’obulamu n’olulimi olungereza.


Photo Credit: www.theinsider.ug