ABABAKA BAGOBEDDE DDALA WANO OBUGWENYUFU

Ababaka mu lukiiko lw’eggwanga wano abali mu Ttabamawanga eyatudde mu kibuga Geneva ekya Switzerland bazzeemu nebasimbira ekkuuli ekiteeso ky’okukubaganya ebirowoozo ku bbago ly’eby’okwegadanga okutali kwa butonde nga bakulembeddwamu omukubiriza waabwe Rebecca Alitwala Kadaga.

Bano bagamba nti enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ababaka ba Canada ne Belgium abaabadde bagenda bamatiza ababaka abalala okuva mu mawanga ag’enjawulo okukiwagira wabula abaffe ne bagaana nga bagamba nti buno bugwenyufu bwennyini obutakkiriganyizika nabwo mu mawanga ga Ssemazinga ono.

Ekiteeso kye baasimbidde ekkuuli kitunuulidde abasajja n’abakazi okwesanyusanga mu nsonga z’omukwano mu bwannamunigina,abasajja n’abakazi okwagalana n’abantu ab’ekikula ekimu mu butonde,n’abavubuka abawakanya obutonde bwabwe aba Transgender.