Batandise okubasuulira ebintu ebweru

Abatuuze naddala ab’ebibanja bali mu kusattira mu ggombolora y’e Kiyuni e Mubende, bangi ku bbo bannanyini ttaka batandise okubasuulira ebintu ebweru, n’okusingira ddala ba nnamwandu.

Ssentebe w’e Kiyuni Aloysius Byamunugu atubuulidde nti ennaku zino buli watuuka abantu bakaaba gwa kubasindiikiriza ku bibanja, kwekusalawo okusisinkana ababaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu okuteeseza embeera eno, mu bbalaza egeenda okutuuzibwa e  Kijumba.


Photo: www.weather-forecast.com

GAVUMENTI Y’EBBA ETTAKA E MUBENDE NE AMURU

Abataka mu district ye Mubende ne ginnaayo eya Amuru baweddemu essuubi eri Gov’t eramula kuno mu kulwanyisa ekibbattaka ewaabawe era nebagituuma Gov’t ekyasinze okubba ettaka ku bantu baalyo.

Bino bye bimu ku byeyolekedde mu alipoota ekoleddwa mu kitundu kino ng’ewomeddwamu omutwe ekitongole ekimanyiddwa Centre for Basic Research mu kunonyereza okukoleddwa ku bugulanyi bw’ebibangirizi by’ettaka n’enfuga y’ettaka mu ggwanga lino.

Akuliddemu abanoonyereza bano Omukyala Josephine Ahikire ategeezezza nti okunonyereza kwebakoze kulaze nti abantu okwekubiranga enduulu eri Gov’t ku by’ettaka baakivaakodda kubanga nayo tebakyagyesiga ng’eringa y’ewomye omutwe mu kubanyagako ettaka lyabwe basigalenga nga bataayaaya.

Alipoota eyongera n’eraga nti ebyalo bina birambirira mu district ye Mubende byasengulwa oluvannyuma lw’ekitongole kya Gov’t eky’obusigansimbi ekya Uganda Investment Authority okugula ettaka ku nnaggagga Emanuel Bukko Kayiwa bamale baliweeko liizi ya myaka 99 kampuni y’abalimi b’emmwanyi aba Kaweeri Coffee Ltd ey’abagirimaani.


PHOTO: www1.american.edu

BAFIIRIDDE MU WEEMA E MUBENDE

Poliisi e Mubende etandise okunonyereza ku kiyinza okuba nga kyekyavuddeko okufa kw’abasajja abapakasi ababiri abaasangiddwa bafiiridde mu weema eriranye amaka g’omusajja amanyiddwa nga Edward Kasibante.

Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu erimanyiddwanga Wamala Robert Ochom ategeezezza nti abafudde kuliko Sudir Byaruhanga 38 ne munne Ronald Mutebi 42 bombi nga babadde bapakasi mu maka g’omusajja ono Kasibante omutuuze ku kyalo ekimanyiddwa nga Kisalwa  mu ggombolola ye Kitenga mu Mubende.

Ochom agamba nti emirambo gy’abasajja bano gyasangiddwa mu weema yonna nga mbikke nga bandiba baggweereddwako omukka gwebassa nebafa ekiziyiro.

Emirambo gyabwe gitwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende abasawo beetegereze ekiyinza okuba nga kyekyabasse.


PHOTO: www.weather-forecast.com

E MUBENDE AMASOMERO GATAMBULIRWA MITALA NA MITALA

Abatuuze ku kyalo Njagaasi ekisangibwa mu muluka gwe Bugonzi mu ggombolola ye Kitenga beekubidde enduulu eri abakulu abatwala district yaabwe eye Mubende badduukirirwe ku mbeera y’eby’enjigiriza mu kitundu kino ebitakyasoboka baana bato abatandika okusoma.Omu ku batuuze mu kitundu kino era omutongole wa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda eruuyi eno Mukyala Lwabutentule Jane ategeezezza nti abaana baabwe abaalibaddenga batandika okusoma tebalina ssomero liri kumpi lya ddaala lya Primary webayinza kubatwala ng’eriri okumpi liri mu mayiro 15 abaana bano zebatasobola kutambula.

Omukyala ono era ategeezezza nti baalina essomero mu kitundu kyabwe limu eryali erya Gov’t wabula neribaggyibwako ng’abakungu b’eby’enjigiriza beekwasa nti abazadde tebalitutteemu baana nga lyayitibwanga Kitaama PS era neriggalwa olwo abaana baabwe nebasigalira obutakyasoma.Mungeri yeemu ono agamba nti ye ne batuuze banne basobeddwa eka ne mu kibira kubanga enkola za Gov’t ez’enjawulo ewaabwe tezituusibwayo ng’ebintu bingi bawulira biwelire nga bikolebwa mu bitundu ebirala ng’ewaabwe bikirako ebyagobwayo.