ABATAKA MU LUWEERO BESIGYE BAMUTEGEKEDDE EKYAPA N’ENTE NNUSUBULAAYA

Banna FDC mu district ye Luweero batandikiddewo okweteekerateekera omuntu waabwe abakwatidde bendera mu kalulu akabindabinda ak’obukulembeze bw’eggwanga Ret Col Dr Kiiza Besigye.

Akulira eby’amawulire mu kibiina kya FDC eruuyi eno Kaddu Geoffrey ategeezezza nti kyamazima ddala basazeewo bakeereko okuteekateeka kw’okujja kw’omuntu waabwe gwebasuubira ng’ennaku z’omwezi 6th omwezi ogujja ogwa Mukutulansanja Ogw’okubiri wakati mu kakuyege gwaliko agendereddwamu okumutuuza mu ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga.

Bano bategekedde Besigye ettaka n’ekyapa kyalyo okwo gattako ente nnusubulaya gyebaagala atandikireko okunywa amata ate nebamutegekera n’embuzi zi kimeeme nga baagala buli wanaatuuka ku olwo ng’agenzeeyo ayanirizibwe na mizira era buli wamu akwasibwe embuzi zebaagala atandise ekisibokye amangu ddala nga y’akatuula mu ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga.


Photo Credit: www.elections.co.ug

MUSEVENI AKUBIDDE BESIGYE EVVU

Essanyu n’enduulu ey’oluleekereeke byefuze olukungaana lwa Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni ali mu kakuyegewe anaamuzza mu ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino mu Bugwanjuba bwabadde ku ssomero lya Kabanyonyi PS mu Ndorwa East awakiikirirwa Omubaka Winfred Nuwagaba omu ku banna NRM abaakazibwako ba Kyewaggula naye kennyini gyeyeetabidde ku lukungaana luno.

Photo by @AbuMwesigwa
Photo by @AbuMwesigwa

Agavaayo gategeezezza nti Nuwagaba bwatuuse mu lukungaana luno olwo enduulu n’esaanikira wonna ng’eno bwebamuwaana nti Nuwagaba ye waffe ataliiko amuseeseetula newankubadde nga yeesimbawo ku bwannamunigina.

Kibuz’omukombi Nuwagaba bwalinnye akatuuti okwogerako eri abawagizibe n’eri aba Yoweri Kaguta Museveni Kabwejungira kennyini bwamweyitidde essanyu neribula okutta abantu.

Nuwagaba abadde asuubirwa okuwanika ekinkumu ekisajja eky’ekibiina kino takiwanise era bwabuuziddwa lwaki eyeesimbyewo ku bwannamunigina yeetabye ku lukungaana lw’ekibiina kino abategeezezza nti ye akyali mubaka w’abantube era azze ku lwabwe.

Ye Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni abataka abasabye balwanennyo beegobeko obwavu nga basitula ennyingiza y’omu maka era n’abategeeza nti abamu ku bataka tebaawula nkulaakulana ya kitundu na nkulaakulana ya nnyingiza mu maka kyayagala ate okuteekako ennyo essira mu kiseera kino ate.

Nga tannata kazindaalo Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni mpaawo kigambo kiwoomu kyayogedde ku munne bwebavvunkanira entebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino era amusuza omutima ku mpagi ng’Omutwalo Ret Col Dr Kiiza Besigye gwagambye nti asiiba amulagira agende gyoli ye waali yafuukirawo buno obuyuuni obwakazibwako Obw’ebindu.

BESIGYE ABUGUUMIRIZZA ABE NAKASEKE MUSEVENI GYEYAGGYA AMANYI

Akwatidde bendera ekibiina kya FDC mu kalulu k’obukulembeze bw’eggwanga lino Ret Col Dr Kiiza Besigye eggulo lya leero asuubirwa okukuba olukungaana olusuubirwa n’okumenya emiti mu kabuga ke Kikyusa akasangibwa mu ggombolola ye Semuto mu district ye Nakaseke.

Ret Col Dr Kiiza Besigye olwa leero lwonna azze akuba enkungaana esaamusaamu ez’abawagizibe mu kakuyege gwalimu gwatutte mu district ye Nakaseke olwa leero nga yasoose Ngoma gyasisinkanidde abawagizibe n’azzaako abe Kiwoko,wuuyo Kyamutakasa,mu kibuga kye Nakaseke,Semuto gyagenda okuva ayolekere Kikyusa.

Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko olwa leero enkumi n’enkumi z’abataka mu district ye Nakaseke bawembedde ku makubo ne bu bubuga obw’enjawulo Ret Col Dr Kiiza Besigye mwagenze ayogererako  eri abawagizibe leero.

Omusasi waffe Ssozi Geofrey atusakira ag’eruuyi eyo atutegeezezza nti abawagizi ba Besigye omuli bannakibiina kya FDC n’abatali bangi balabiddwako mu byalo nga basaayirira beeyune obubuga buno beerabire ku bo gwebayise omununuzi waabwe era omu ku baayitako ewaabwe nga bakekeza ennyago jjuuzi ezaaleeta obukulembeze bwa Yoweri Kaguta Museveni bwebavvunkanira entebe y’obukulembeze bw’eggwanga.

Besigye bano azze abasaba bamuwagire atereeze eggwanga ng’ayita mu kulongoosa eby’obulamu,eby’enjigiriza awamu n’okulwanyisa omuze gw’obukenuzi ate n’abasaba bafubennyo okweddiza obuyinza bwabwe kubanga bulina kubeera mu bantu.