ABABAKA BAGUDDE EBBEEYI BAGULIRIRWA SSUKAALI

Abamu ku babaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu bataddewo akakiiko kanonyereze ku bigambibwa nti waliwo ekyojamumiro ekigenda kiyita mu bamu ku babaka n’ekigendererwa ekiyisa ebbago ly’ennongoosereza mu myaka gy’abalamuzi.

Kinajjukirwa nti omubaka wa Kilak North mu lukiiko luno Anthony Akol yeetonda olw’okukwata akasawo ka ssukaali aka kilo amakumi 50 n’akakadde ka ssente za wano akalamba ne babaka banne abalala amakumi 26 mbu n’ekigendererwa ekiwagira ebbago ly’ennongoosereza eno eyaleetebwa Kafeero Ssekitooleko owe Nakifuma.

Ababaka okuli Mathias Mpuuga, Gerald Karuhanga ne munnaabwe Anthony Akol bategeezezza nti ssibaakumala galeka nsonga eno bwebatyo.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: www.redpepper.co.ug

 

Paalamenti yaakunoonyereza ku nsibuko y’obuwumbi obusatu

Paalamenti mu kakiiko kaayo akeetegereza ensaasanya y’ensimbi yaakunoonyereza ku nsibuko y’obuwumbi obusatu obwaggweredde mu kakuyege kwa Dr Specioza Wandera Kazibwe, luno jjuuzi lweyeesimbyewo ku kifo kya ssentebe w’akakiiko k’omukago gw’amawanga ga Africa, kyokka n’amaliriza nga awenjezza bwoya bwa mbuzi mu kkukuuzi.

Okulonda okwayindidde e Kigali ekya Rwanda Dr Specioza yamalirizza ali mu kifo kya kusatu, mu basatu abaabadde beesimbyewo gye byaggweredde nga okulonda kwongezeddwayo okutuusa mu gatonnya, ow’omwaka oguggya.

Amyuka ssentebe w’akakiiko kano omubaka Gerald Karuhanga agambye nti oluvannyuma lw’okulonda kuno, batandise okwetegereza awaavudde ensimbi ezaagenze mu nteekateeka eyo, nga waliwo okutya nti zandiba nga zaava mu kyagi kya gavument.


Photo: www.sunrise.ug