FDC EVUMIRIDDE EKY’OKUDDAMU OKUKWATA MUMBERE

Forum for Democratic Change etegeezezza nti kikyamunnyo poliisi ya Uganda okuzannyiranga ku ddembe lya bannayuganda abakwatibwa buli lukya ate ne bateebwa mu ddakiika obudakiika ne nebaddamu okukwatibwa.

Ssekamwa w’ekibiina kino Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza nti kyali kikyamunnyo Omusinga wa Rwenzururu ouddamu okukwatibwa nga y’akateebwa.Ssemuju Nganda ategeezezza nti kino kyalagira ddala nti poliisi tewa kkooti kitiibwa.

Kinajjukirwa nti Omusinga ku lw’okutaano lwa ssabbiiti ewedde yateebwa ku kakalu ka kkooti wabula nga tannagwa na mu kafuba ka baamweyimirira mbuga n’addamu okukwatibwa.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

OKUSABA KU KITEBE KYA FDC KUVUMIRIDDE EBYALI E KASESE

Bannaddiini bavumiriddennyo ettemu eryakolwa ku bataka be Kasese mu ggandaalo lya ssabbiiti ewedde.

Pastor David Ngabo ow’olulango mu kukulemberamu okusaba ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi ategeezezza nti okukozesanga emmundu mu kwanganga bannansi abatalina mmundu kikolwa kikyamunnyo era ssikyekyali kyetaagisa.

Obubaka bwebumu era bwebwogeddwa Sheikh Issa Katende ng’ono ategeezezza nti kino kyali kikolwa kyakutiisatiisa bataka na kubamalako ddembe lyabwe.

Ono ategeezezza nti lino ssiryeryali eddagala eryetaagisa mu nsonga eno kubanga ekyakolwa kiseesabuseesa mu bikolwa bya kuwooleraggwanga.

Kinajjukirwa nti endooliito zino zaatandika lwakuna lwa ssabbiiti eri nezisajjuka mu ggandaalo ng’abantu abasuubirwa okusukka mu kikumi baagenda ezzirakumwa.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: NBS Tweeter

ABAANAAYANIRIZA BESIGYE BALABUDDWA,BANDIKWATIBWA

Poliisi mu Kampala erabudde bannabyabufuzi naddala abali ku luuyi oluwabula Gov’t ya kuno abaneetantala okweyiwa mu nguudo n’okukumba mbu nga baaniriza munywanyi waabwe Ret Col Dr Kiiza Besigye ng’akomawo okuva e bunaayira ku lw’okuna lwa ssabbiiti eno nti anaakwatibwako kaakumujjuutuka.

Bwayogeddeko ne bannamawulire,Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategeezezza nti bafunye amawulire nti bannakibiina kya FDC baagala kukumba nga baaniriza Besigye kyagambye nti ssibaakukikkiriza wadde okukkiriza omuntu yenna okusimba ku mabbali ga mwasanjala wa Ntebbe mbu bamulindirira.

Wabula bo bannakibiina kino bagamba nti ssibeetegefu kukyusa mu nteekateeka zaabwe nga Ssentebe waakyo mu Buvanjuba bw’eggwanga Wafula Oguttu ategeezezza nti baawandiikiradda poliisi nebagitegeezaako nga kyebalindirira bkuumi bwayo ku olwo na kubabuulira bwebaneeyambisa mwasanjala ono.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: www.aljazeera.com

ENTALO MU FDC ZAAKWONGERA EKIBIINA AMAANYI  

Omu ku bannamateeka abatutumufu mu kibuga Kampala era omu ku babanguzi ba bannamateeka mu Ssettendekero wa Makerere Richard Kirunda ategeezeza nti entalo n’okulumagana okuwulirwa mu kibiina kya FDC ensangi zino kamu ku bubonero obulaga ekibiina ekiramu era za mugasonnyo.

Waliwo amawulire agasaasaana nga galaga nti waliwo embiranye mu bakungu b’ekibiina kino waggulu mu kulonda bannakibiina abanajjuza ebifo ebikalu ku kakiiko kaakyo ak’okuntikko nga wano Kirunda waasinzidden’ategeeza nti kyamazima ddala ekibiina kyonna kitambulira ku demokulaasiya bino tebibulamu nti ate okulumagana kuno kwongera kunyweza kibiina.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

TURINAWE NE BANNE BAKWATIDDWA

Ssaabakunzi wa bannakibiina kya FDC omu ku bakyala abatanyigirwa mu nnoga Ingrid Turinawe akwatiddwa bweyabadde yaakava ku kkooti e Nakawa omwagalwa w’abangi Ret Col Dr Kiiza Besigye gyasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi James Eremye Mawanda n’asomerwa emisango egyamuggulwako Gov’t ya kuno.

Turinawe yakwatiddwa wamu ne bannakibiina kya FDC abalala bwebabadde batambuza ebigere nga bava ku kkooti e Nakawa nga badda ku Spear motors.

Siraje Bakaleke aduumira poliisi mu Bukiikaddyo bwa Kampala ategeezezza nti bano batwaliddwa ku poliisi ya Kiira Road nga kitegeezeddwa nti baakusimbwa mu mbuga bavunaanwe ogw’okutambuza ebigere mu ngeri y’okulaga obutali bumativu bwabwe.


PHOTO: www.youtube.com

GAVUMENTI ESIMBIRA FDC KKUULI MU BYONNA

Eby’okwerinda byongeddwamu amanyi okuliraana n’enguudo zonna ezidda ku kkooti etaputa Ssemateeka w’eggwanga wakati mu kulindirira okuwulira okwemulugunya okwatwalwa embuga Ssaabawolereza wa Gov’t a kuno bweyali asimbira ekkuuli enteekaeeka z’ekibiina kya FDC ezaali ez’okulaga obutali bumativu bwabwe mwebaagattanga n’okusaba.

Okujulira kuno kuwulirwa abalamuzi bataano nga bakulembeddwamu amyuka Ssaabalamuzi wa kuno Steven Kavuma n’abalala okuli Richard Butera,Chebroni Barishaki,Elizabeth Musoke ne Catherine Bamugemereirwe.

Ssaabawolereza wa Gov’t mu mpaabaye ayagala kkooti ewerere ddala enteekateeka zino ez’okulaga obutali bumativu bwabwe zebaakazaako Defiance Campaign omuli okusaba kwebaali baatekawo okwa buli ssabbiiti,okwegugunga mu ngeri yonna okwo ssaako obutaddiramu ddala kusaba kuddamu kwetegereza byava mu kulonda eby’akalulu k’obukulembeze bw’eggwanga.


PHOTO: www.africaworldnews.net

ABA FDC BATEEKATEEKA KUSALIRA GAVUMENTI AMAGEZI

Abakungu bannakibiina kya FDC beevumbye akafubo ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi ku lwe Ntebbe balabe bwebagenda okwanganga ebyasaliddwawo abakungu ba Gov’t ebikwata ku kaweefube waabwe aw’okulaga obutali bumativu bwabwe.

Kinajjukirwa nti Gov’t eno olunaku olw’eggulo yalangiridde nti tewabaawo mukutu gwa byampuliziganya gwonna guddamu kuweereza butereevu nteekateeka za bannabibiina ebiri ku luuyi oluwabula Gov’t ya kuno okuli okusabiranga eggwanga,okutambuzanga ebigere nga balaga obutali bumativu bwabwe kwebaakazaako ‘One Million March Demonstration’,okwambalanga engoye enzirugavu n’okusigalanga awaka nebatagenda ku mirimu.

Amyuka Ssaabawandiisi mu kibiina kino Harold Kaija ategeezezza nti akafubo kano kakubirizibwa Ssenkaggale w’ekibiina kino Maj Gen Mugisha Muntu.


PHOTO: www.chimpreports.com

POLIISI E ETEEVUNYA E NAJJANANKUMBI

Ab’ebyokwerinda ku kitebe ky’ekibiina kya FDC bateevunya okukira obuwuka wakati mu kulinnya eggere mu nteekateeka ya bannakibiina ebaddewo olwa leero ey’okutambula nga basinziira ku kitebe kino bajje mu masekkati ga Kampala bagumbe ku ssomero lya Nakivubo Blue PS nga baagala wateekebwewo okwetegereza okw’enjawulo mu byava mu kalulu k’omukulembeze w’eggwanga akaakubwa omwaka guno gwennyini mu mwezi gwa Mukutulansanja Ogw’okubiri Yoweri Kaguta Museveni amale alangirirwe ku buwanguzi bano kyebawakanya nga bagamba nti omuntu waabwe akalulu kano ye yakawangula.


PHOTO: Harold Kaija

POLIISI EWERA KWAMBALAGANA NA FDC ABAAGALA OKULEMESA OKULAYIRA

Poliisi eyungudde basajja baayo okwetooloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti bannakibiina kya FDC bateekateeka okulemesa okulayira kw’omukulembeze w’eggwanga ng’ennaku z’omwezi 12th omwezi guno ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Amyuka Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agambye nti nga poliisi ssibaakuganya nteekateeka eno kugenda mu maaso n’okusingira ddala abo abateekateeka okuva e Kabarole,Isingiro,Ntungamo,Kisoro,ne  Kasese abateekateeka okujja e Kampala.


PHOTO: www.observer.ug

POLIISI ERABUDDE ABA FDC ABAAGALA OKULEMESA OKULAYIZA PRESIDENT

Poliisi erabudde abakulira ekibiina kya FDC mu disitulikiti ye Wakiso okukomya okukunga abantu nekigendererwa ekyokulemesa okulayiza omukulembeze w’eggwanga  okusuubirwa okubaawo mu mwezi gwa Muzigo Ogw’okutaano omwaka guno.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire Ssekamwa wa poliisi Fred Enanga ategeezezza nti bafunye amawulire okuva mu bitundu nga Abayita ababiri, Kitala, Kasenyi n’ebitundu bya Kampala  abakulembeze ba FDC nga bakulirwa John Mugabi eyaliko omukulu w’abayizi mu Ssettendekero wa Kyambogo ne Alex Gitta nga bakunga abantu 10,000 okugenda mu maka ga Dr Kiiza Besigye n’ekigendererwa okuwaliriza Gavumenti okumuyimbula mu busibe bwaliko mu makaage.Enanga ayongerako nti batandise okubalinnya akagere okulaba nga tebatabangula mirembe awamu n’obutayonoona mirimu gyabantu.