SAM KUTEESA NE BANNE BALI KENYA NE JOHN KERRY KU BYA SOUTH SUDAN

Minister w’ensonga z’amawanga amalala mu ggwanga lya America John Kerry mutaka mu ggwanga lya Kenya gyasisinkanidde ba minister b’ensonga z’ebweru w’amawanga gaabwe okuva mu mawanga ageetoolodde eggwanga lya South Sudan.

Agavudde eruuyi eno gategeezezza nti Kerry okujja mu ttundutundu lino agenderedde kwevumba kafubo n’abakulu bano batemere wamu empenda ezinaaleeta emirembe mu ggwanga lya South Sudan eryagala okufuukamu kalintalo oluvannyuma lw’abakulu mulyo buli lukya okugwangana mu malaka ba ssaalumanya nebafiira obwemage.

Ba minister b’ensonga z’amawanga amalala abasisinkanye Kery kuliko; owa Kenya kabakyaza,Djoubuti,Ethiopia,Tanzania,Uganda,Somalia,Sudan Obwaguuga ewa Omal Bashir ne South Sudan ebeevumbizza akafubo.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: www.cofek.co.ke

UGANDA EZANNYA NE ETHIOPIA

Ddaaki Uganda Cranes etuuse ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo mu kikopo ekiwakanirwa amawanga ag’amasekkati n’obuvanjuba bwa Ssemazinga w’Africa (CECAFA) era yaakuzannya ne ttiimu ya Ethiopia abategesi b’empaka zino omwaka guno.

Kinajjukirwa nti Uganda yawangudde Malawi bweyabakubye ggoolo bbiri bwereere(2-0).Ate ababadde bannantameggwa b’empaka zino aba Kenya bawanduddwamu Rwanda mu kakodyo ak’okusimulagana peneti oluvannyuma lw’omupiira okugwa amaliri okutuuka ku ddakiika ey’ekyenda.Enteekateeka y’emipiira nga bwegigenda okuzannyibwa mu luzannya olw’akamalirizo olwa leero ku lw’okuna eraga nti Uganda yaakwambalagana ne Ethiopia ku ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’emisana (Uganda vs Ethiopia 6:30 ez’emisana) ate Sudan eyambalagane ne Rwanda ku ssaawa ssatu n’eddakiika amakumi 45 ez’emisana (Sudan vs Rwanda  9:45 ezemisana)