Eyakwata ak’emyaka omukaaga alagiddwa yeewozeeko

Omusajja Ssekiruvu ow’emyaka amakumi 28 agambibwa okugagambula Obumuli bwa Kaanakawala ak’emyaka omukaaga gyokka asindikiddwa mu kkooti enkulu awerennembe n’ogw’okujjula ebitannaggya.Ono ategeerekesenga Charles Luyiro omutuuze we Kitara-Kikaaya wano mu Kawempe asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti ya City Hall Valeria Tuhimbise n’alagira addizibwe mu kkooti enkulu ewozesa egy’engeri eyo oluvannyuma lw’ekitongole ekiwaabi okutegeeza kkooti nti lumalirizza egyalwo egy’okunonyereza ku musango.

Kitegeezeddwa nti ono akaana yakatigaatiga n’oluvannyuma n’akeganzikirako mu kayumbake gye yakayitira nga 28th ogw’omunaana omwaka ogwo engeri gye kaali kawala ka muliraanwawe.

DR NYANZI AWAKANYIZZA EBY’OKUMUKEBERA OMUTWE

Omukyala atasibazikweya awerennemba n’ogw’okumokkolera ku mikutu emiyungabantu Dr Stella Nyanzi ensonga z’okwekebejja obwongobwe azitutte mu kkooti etaputa Ssemateeka gyayagala egobe enteekateeka eno.

Ng’ayita mu ba puliidabe abakulembeddwamu Peter Walubiri Stella Nyanzi ategeezezza omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road James Eremye Mawanda nti etteeka erikwata ku nzijanjaba n’enneetegereza y’obwongo mu Ssemateeka wa 1938 terikwatagana ne Ssemateeka wa 1995.Ono agamba nti obuwayiro buwerera ddala obutyoboola eddembelye ery’okuwulirwa n’obwenkanya n’empisa gyasaanidde okuyiswamu nga waakudda embuga nga 7th omwezi ogujja.

PULIIDA ATAWENA EWALABANYIZZA KYALYA OKUKKAKKANA MU KKOOTI

Okuvaako mu mbuga z’amateeka,omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe alaze olw’ennaku z’omwezi 1st omwezi ogwa Mugulansigo Ogw’okusatu omwaka guno okuwulirirako omusango munnamateeka Ssekaana Musa mwavunaanira omu ku bavvunkanira entebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino Omukyala yekka Maureen Kyalya Walube ogw’okumuvvola n’okumuwereba enziro.

Ssekaana agamba nti omwaka oguwedde mu mwezi ogwa Mukutulansanja Ogw’okubiri Kyalya aliko byeyayisa ku muko gwa Facebook ye ng’agamba nti aliko weyakozesa omukonogwe mu nsonga z’enzikiriziganya ku kujulira okwatwalwa embuga nga kuwakanya obuwanguzi bw’omubaka omukyala owa Jinja Agnes Nabirye.Ssekaana ayagala kkooti eragire Kyalya amuliyirire obukadde bwa ssente za wano ebikumi wabindaba 300 beddu olw’okumuwereba enziro.

SEJJUSA ALEETEBWA MU KKOOTI LEERO

Eyaliko omukwanaganya w’emirimu gy’ekitongole kya Gov’t ekikessi Gen David Ssejjusa amanyiddwa nga Tinyefunza asuubirwa olwa leero mu kkooti y’amagye asomerwe egyamuzaalira ebyeru Makaayi byazaalira ensiko.

Ssejjusa amanyiddwa obulungi okubeera omu ku banene mu kibinja kya kakuyege wa Ret Col Dr Kiiza Besigye akwatidde ekibiina kya FDC bendera mu kalulu k’obukulembeze bw’eggwanga akanaakubwa omwezi guno yakwatibwa mu ggandaalo eriyise bweyaggyibwa mu makaage agasangibwa wano e Naguru ku nkingizzi z’ekibuga Kampala negyebuli eno tannamanya kyamukwasa ssonga ba Puliidabe okuvajjo bakira batiisatiisa okukuba Gov’t eramula kuno mu mbuga z’amateeka ssing’omuntu waabwe alwisobwa mu kaduukulu nga taleeteddwa mu kkooti.