AB’EBY’OBULAMU BAAKUGEMA CHORELA

Ministry y’eby’obulamu emalirizza enteekateeka z’okugema bannayuganda ekirwadde kya Chorela ekiva ku bujama n’obuligo esuubirwa okuggyibwako akawuuwo mu mwezi ogujja ogwa Muzigo.

Ssekamwa wa ministry eno Vivian Nakaliika ategeezezza nti enteekateeka eno egendereddwamu kwongerera ddala kukendeeza mikisa gya kulumbwa kirwadde kino nga baakutandikira mu district gyekibadde kikyasinze okwegirisiriza.Eddagala lino okwawukanako ku ddala lyonna erigema lyakuweebwanga abantu abawezezza omwaka ogumu mu kamwa emirundi egy’enjawulo.

Ekirwadde kino kizze kiyimbya abataka be Hoima endubaale okuviira ddala mu mwezi ogw’okubiri weewaawonga kigenze kigemebwa amampaati naye ng’omuntu omu akyali ku kitanda.

 

 

ESSOMERO LIGGADDWA LWA CHORELA

Essomero lya Ossi PS erisangibwa mu district ye Nebbi liggaddwa lwakubalukawo kwa kirwadde kya Chorela ekikutte abaana kkumi nekiteeka abaliddukanya mu bweraliikirivu.

Agavudde eno gategeezezza nti essomero lino erisangibwa mu ggombolola ye Palombo erikulirwa Micheal Odubango abaliddukanya bategeezezza akulira eby’enjigiriza eruuyi eno nebakkanya liggalwe okumala ekiseera ekitali kigere batangire okusasana kw’ekirwadde kino.

Atwala eby’obulamu eruuyi eno Dr Jacob Oryem ategeezezza nti e Nebbi kyakattayo abantu bataano ng’abalala 170 batawanyizibwa ekirwadde kino.


PHOTO: www.monitor.co.ug

CHORELA ATABUKIDDE ABE BUTALEJJA

Abantu abalala bana nabo battiddwa ekirwadde kya Chorela eri mu district ye Butalejja mu Buvanjuba bw’eggwanga lino ekilinnyisizza omuwendo gw’abantu ekirwadde kino bekyakatta mu mwaka guno gwokka nebawera munaana.

Atwala eby’obulamu eruuyi eno John Matovu ategeezezza nti ababiri ku bano baafiridde mu maka gaabwe sso nga bannaabwe ababiri bafudde bajjanjabiddwa nako mu ddwaliro.


PHOTO: www.projectcensored.org