CHAMELEONE TALABISE MU KUSABIRA MWOYO GWA MUGANDAWE AK47

Omuyimbi ow’erinnya Joseph Maynja amanyiddwa nga Jose Chameleon talabiseeko waabwe e Kalangaalo mu Mityana mu kusabira omwoyo gwa mugandawe Emmanuel Hummerton Mayanja eyamanyibwa ennyo nga AK47 naye eyali omuyimbi nnakinku.

Okusaba kuno kwategekeddwa abayimbi abaali mikwanogye era mikwano gy’enju mweyazaalwa.Bwakulembeddemu okusabira omwoyo gwa AK47,Rev Fr John Kintu akubirizza abantu abagaggawala ne beerabira abantu baabwe n’abenganda zaabwe okweddako kubanga eby’obugagga byansi.

 

EDDY KENZO AGENDA KWEGERA EMBAVU NE CHEMELEONE MU KORA AWARDS

Abanyumirwa emiziki gy’abayimbi abanene ababiri okuli aba Eddy Kenzo n’aba Jose Chameleon bukya lubanga lwa mmindi basobeddwa eka ne mu kibira.Abanene bano baalondeddwa mu kiti ky’emiziki kimu mu mpaka ezimanyiddwa nga KORA Awards ekisobedde abawagizi baabwe ku kiki ekinaddirira.

Abawagizi ba Chameleon bagamba nti oluyimba lwa Eddy Kenzo lweyatuuma ‘Zigido’ mu kulondebwa kwalyo tebeeyambisizza Vediyo yaalwo ntuufu abawagizi ba Kenzo kyebasambazze nga bagamba nti kuno kuwereba muntu waabwe nziro.

Enjuyi zombi zinonya buwagizi  wabula oluuyi olumu lulaba lwandisaanidde ekisinga kw’ekyo kyerwandifuna.Wabula bo baanabalenzi bano abayimbi babadde tebannayingizibwa mu nsonga zino weewaawo ng’era buli omu yeegwanyiza kuwangula munne.Guno gwe mulundi ogusoose baanabalenzi bano bombi okufaanana abatomeragana ssonga gyebuvuddeko enkolagana yaabwe ebaddenga tebuusibwabuusibwa.Mu kawaayiro ka Vedeo esinze mulimu Tiwa Savage ne Mr Flavour awamu n’abayimbi abalala.Empaka zino zaakubeerawo mwezi gwa Mugulansigo Ogw’okusatu mu ggwanga lya Namibia.