ABAATULUGUNYIZIBWA KONY BAAKUGOBERERA KKOOTI

Kkooti y’ensi yonna etuula e Hegue mu Netherlands ng’ekwataganidde wamu n’ekitebe kya Denmark wano mu ggwanga batongozza kaweefube w’okutuusa ebigenda mu maaso mu kkooti eno eri abantu abaakosebwa olutalo lwa Mawale Yosefu Kony.

Bw’abadde atongoza enteekateeka eno,omuwandiisi wa kkooti eno Herman Von Herbal ategeezezza nti kino basazeewo bakikole oluvannyuma lw’okumanya nti abataka abaakosebwa beetaaga okubigoberera n’okusingira ddala eby’eyaliko omu ku baduumizi ba Kony awozesebwa mu kkooti eno Dominic Ongwen.

ASANGIDDWA AFIIRIDDE MU BULIRI

Abatuuze be Bulaga mu muluka gwe Ssumbwe wano mu district ye Wakiso bazikubyemu makiikakiika bwebagudde ku mulambo gwa mutuuze munnaabwe nga yatemuliddwa mu nnyumbaye.Ono ategeerekesenga Jackline Nakiyimba abadde atemera mu gy’obukulu amakumi 25 y’asangiddwa nga yattiddwa mu buliribwe oluvannyuma lw’okulaba nga taggulawo nnyumbaye.

Ssekamwa wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emiriano Kayima ategeezezza nti omulambo guggyiddwayo neguleetebwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga wabula bateeberezebwa okuba nga wabaddewo abalina omukono mu kufaakwe.