BETTY KAMYA ALABUDDE LUKWAGO KU SSANYU LY’OKUGENDA KWA MUSISI

Minister wa Kampala Betty Olive Namisango Kamya atenderezza Nnampala w’ekibuga Kampala eyasabye okulekulira Jennifer Musisi Ssemakula bwategeezezza nti yakola kinene nnyo okuzza engulu ekitongole kya KCC ekyali kyafuuka Kiguumaaza ng’Ekibugo ekikuuma Empindi.

Betty Kamya agamba nti okufuula ekitongole kino KCCA kyazzaamu nnyo amanyi bannaKampala essuubi n’ekibuga nekidda buggya.

Bwayogedde ku mukyala ono,Betty Kamya agambye nti abamuvumiridde ku byakoze mu Kampala nga Loodi Mayor n’agamba nti balindirira kiva eri kamulonda yennyini M7.