Eyabba ebirabo asibiddwa n’ebbujje lya mwaka

Nnakapanka wa Nnakazadde w’eggwanga Judith Nanangwe ow’emyaka amakumi 24 asindikiddwa ku alimanda e Luzira n’omwanawe ow’omwezi ogumu bweguti bwagguddwako ogw’okubba ebirabo by’ekkanisa.Nanangwe asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti ya City Hall wano mu Kampala Nabirye Fatuma n’alagirwa addizibwe enkya.

Oluuyi oluwaabi mu musango guno lutegeezezza nti omukyala ono Judith Nanangwe omutuuze ku kyalo Kob e Sseeta mu Mukono nga lumu omwezi guno yawaanyisa ensawo y’ebirabo n’eyiye gyeyakolerera omwali emitwalo egyasoba mu Nkaaga mu ena mu kkanisa ya Watoto e Ntinda wano mu Kampala.

MINISTER W’EBY’ENJIGIRIZA AKUUTIDDE ABEEGASSI

Bannayuganda abeegassi mu bibiina by’obwegassi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bandifuna akamwenyumwenyu ku mataka oluvannyuma lwa Gov’t eramula kuno okutandika kaweefube w’okubidduukirira ng’ebikakkalabiza mu district ye Luweero byo bisagambiza okukira akimezezza okw’enjala.

Omusasi waffe Ssemwanga Lutaaya atutegeezezza nti ebibiina bino biwerako ebigudde mu bintu eruuyi eyo wabula abeegassi nebasabwa okweyambisa ensimbi zebafunye beekulaakulanye n’okusingira ddala ng’obwanga bwabwolekeza eby’obulimi ssinakindi n’eby’obulunzi.

Omubaka w’ekimu ku bitundu ebirimu ebibiina ebiganyuddwa mu nteekateeka eno Dr John Chrisestom Muyingo era minister omubeezi ow’eby’enjigiriza ebisookerwako aliko n’enteekateeka gyalangiridde ku ba Ssemugayaavu abafunye obuyambi buno ng’agambye atuuse okuyitanga n’empingu asibe bassemugayaavu abataagala kukola.

 

UGANDA EZANNYA NE ETHIOPIA

Ddaaki Uganda Cranes etuuse ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo mu kikopo ekiwakanirwa amawanga ag’amasekkati n’obuvanjuba bwa Ssemazinga w’Africa (CECAFA) era yaakuzannya ne ttiimu ya Ethiopia abategesi b’empaka zino omwaka guno.

Kinajjukirwa nti Uganda yawangudde Malawi bweyabakubye ggoolo bbiri bwereere(2-0).Ate ababadde bannantameggwa b’empaka zino aba Kenya bawanduddwamu Rwanda mu kakodyo ak’okusimulagana peneti oluvannyuma lw’omupiira okugwa amaliri okutuuka ku ddakiika ey’ekyenda.Enteekateeka y’emipiira nga bwegigenda okuzannyibwa mu luzannya olw’akamalirizo olwa leero ku lw’okuna eraga nti Uganda yaakwambalagana ne Ethiopia ku ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’emisana (Uganda vs Ethiopia 6:30 ez’emisana) ate Sudan eyambalagane ne Rwanda ku ssaawa ssatu n’eddakiika amakumi 45 ez’emisana (Sudan vs Rwanda  9:45 ezemisana)