KHASADHA BYAKIKA Y’ANI?

Khasadha Byakika ge mannya Ebony Waiswa g’abaddenga akozesa ku mpewo ey’awummudde egy’obuweereza bw’oku mpewo bwamazeemu emyaka amakumi 20 ng’ono yeegatta ku lulyo lwa Beat FM mu mwaka gwa 2007.

Ono y’omu ku bakozi abaludde ku Radio eweerereza mu Luganda naye ng’anyumirwa nnyo okuweerereza mu lulimirwe oluzaaliranwa Olusoga.

Nga weetegerezza bulungi musajjamukulu ono afaanana muntu atali mwangu wa kuggya bigambo wabula bw’omusemberera kituufu aseetula emboozi wammaggwe n’egwa amakerenda.

Khasadha agamba nti ajjukira omulundigwe ogwasooka ku mpewo za Radio eyayitibwanga Green FM kweyawalirizibwa obuwalirizibwa okuweereza nnyiniyo Omugenzi Jerry Wampamba(Mukama amuwummuze mirembe)

Ku mpewo za Radio eno Musajjamukulu ono atutegeezezza nti yaweererezangako bwereere awatali mpeera yonna wabula nga musanyufu olw’obulamu obupya bweyali atandise.Byakika atutegeezezza nti mu mwaka nga gumu yali aliko byagenze ayiga nga n’ebyuma ebimu asobole okubyebeereramu yekka n’aweereza,eyo gye yava ne yeegatta ku Radio eyayitibwanga Greater African Radio eyabeeranga e Kamwokya gyeyasasulwanga Emitwalo etaano egya ssente za wano buli mwezi ng’eyo bweyavaayo n’akolerako mu Monitor FM n’oluvannyuma wano ku Beat FM waawummulidde.

Khasadha ategeezezza nti wabula Radio ez’ebiseera ebyo bwozigeraageranya n’ez’ebiseera bino enjawulo nnene nnyo ng’ennyimba tezaazannyirwanga ku Mayinja nga bweguli kati,Radio luli yabangamu okwogera kungi n’ennyimba ntono naye leero okwogera kwakendeezebwa abawuliriza bongere okunyumirwa ate n’okuweebwa obudde obumala babeeko bye bagamba okwo gattako okwongera okubakuumirako.

Khasadha agamba nti Radio emusobozesezza okusisinkana abantu be yali tasuubira kutuukirira,mu bano anokoddeyo Dr Stella Nyanzi n’Omugenzi SGT Kifulugunyu n’ategeeza nti Radio emusobozesa n’okukola obulango bwa Kkampuni ez’amanyi ne yeefunirangayo ka ssente ak’enjawulo.

Musajjamukulu ono agamba nti akaseera k’atalyerabira lwe lunaku lwayafuluma Studio ng’asuubira bamalirizza n’agenda wabula aba atuuka e Wandegeya baweereza banne ne bamukubira nga bamusaba akomewo bamalirize ppulogulaamu.

Ono agamba nti olulala lwatalyerabira lwe lunaku lwebaakyaza Dr Stella Nyanzi amanyiddwa obulungi okumala gamokkola gagambo nga bwayagala,ategeezezza nti ono yabatambuliza ku bunkenke ng’engalo ziri ku kyuma ssikulwa amegguzaawo eggambo nga tebamuggye ku mpewo.

Mu birala Byakika byayogeddeko ebimuzitoowereddemu ekiseera kyamaze ng’aweereza ku makya kwe kukeeranga ennyo ku mulimu ng’oluusi awulira ng’omutwe ogutasituka ssaako okukeeranga okwebaka asobola okuzuukuka ku makya nga takaluubiriziddwa.

Nga tumaliriza emboozi yaffe naye,Byakika ategeezezza nti annyuse mumativu era nga teyeevuma mulimu guno gwakoledde ekiseera ng’asuubira okubeera obulungi nate awamu ne batabanibe ekiseera ekiwerako.

Ono atutegeezeza nti agenze mu kyalo Luuka gyalimira Emicungwa ng’ayagala agyongere obudde nga bwakola n’emirala ng’omusajja yenna bwaba.

Minister kasaija akubye bannamawulire ekimmooni

Bannamawulire bakonkomalidde mu Ssengejjero lyago wano mu Kampala kyenkana kwagala kuzibya lunaku nga balindirira minister w’eby’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Matiya Kasaija eyafuukidde ddala Omusu gwe Kanyanya.

Minister Kasaija yabadde alindiriddwa bannamawulire atangaaze ku bbanja ly’eggwanga mu mawanga amalala kati eriwerera ddala Obutabalika amakumi ana mu akamu n’ekitundu wabula bannamawulire abaabadde basuubira nti ebikolwa by’abakungu ba Gov’t okubalindisanga ng’abatalina bya kukola nti byakoma mu 2018,beesanze ne mu 2019 bituuse era baalabiddwa batambula basulise emitwe n’ebyuma byabwe wakati mu nnyiike etagambika.

Basoose kubeekakaatikako ne babatta

Poliisi wano mu Kampala nawo enonyererza ku ngeri abaaliko abayizi mu Ssettendekero wa East African University e Kansanga gyebattiriddwamu mu kazigo wano e Kakeeka Mmengo emmanju wa Ssettendekero wa Buganda owa Buganda Royal Institute.Ssekamwa wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire ategeezezza nti bano kuliko Njiba Hudah ow’emyaka 23 ne munne etegeerekeseeko erya Safina lyokka.

Owoyesigire agamba nti mu kasenge omwasangiddwa emirambo mubaddemu obupiira bu Kalimpitawa obukozeseddwa ekiraga nti abaabasse baasoose kubeekakaatikako ate omulambo ogumu ne gusangibwa n’akambe mu ngalo ekiraga nti waabaddewo okulwanagana.Ono agamba nti ab’oluganda lw’omu ku bawala bano baali beekubira dda enduulu gye bali e Ntebe olw’omwana waabwe eyali abuziddwawo.

Poliisi e Kisoro ewenja bawambye mulimi

Poliisi e Kisoro etandise okunonyereza ku bigambibwa nti omulimi ow’erinnya eruuyi eyo yawambiddwa n’abuzibwawo Bamukwatammundu okuva mu ggwanga lya DRCongo. Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Kigezi Elly Maate ategeezezza nti omuwambe ye Mbeta Isaya omutuuze we Munyaga ekisangibwa mu kabuga ke Butogota e Kannungu.

Ono agamba nti yawambiddwajjo bweyaggyiddwa mu nnimiro abasajja abaabadde babagalidde Omugemerawala n’oluvannyuma ne batandika okumusaba Kantanyi wa Bukadde Bubiri balyoke bamute.Matte ategeezezza nti bakola kyonna ekisoboka okulaba nga bamununula.

EYAKIIKAKO MU PAALAMENTI ALEMESEZZA OKUMALIRIZA ESSUNDIRO LYA ISIMBA

Eyaliko omubaka we Ntenjeru South Tom Kazibwe y’omu ku bannayuganda enkumu abaliko obutitimbe bw’ensimbi bwe babanja ku njazi ezeeyambisibwa ku ttaka lyabwe.

Ng’akakiiko k’eby’ettaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire kakyagenda mu maaso n’okutaganjula ensonga ezaaviiriddeko okwesiba kw’emirimu gy’okumaliriza ebbibiro ly’amasannyalaze erya Isimba Hydro power dam nga bayita mu kubanja ensimbi ezisukkiridde obungi,KKazibwe ategeezezza nti yasasulwako Obukadde 750 ku bwakkanyizibwako Obuwumbi 88.

Ono abanja za mayinja,omusenyu n’ekitundu ku ttakalye eriweza yiika 60 erisangibwa e Nakatooke mu Kayunga.

 

BANNAMITYANA BAWAKANYIZZA EMISOLO KU MAYUMBA

Bannayuganda abawangaalira mu Mityana beeweredde okuggalawo amayumba gaabwe olw’emisolo egitandise okubagerekerwa ku mayumba gaabwe ge bagamba nti agasinga basulamu masule newankubadde gaazimbibwa mu ngeri y’amakozi ga nsimbi.

Twogeddeko n’abatuuze mu ggombolola ye Manyi abasing gyebaamalirizza okugerekerwa emisolo gy’amayumba nga bagamba nti kyamazima ddala abakungu ba district yaabwe baagala kubagoba mu ggwanga lyabwe ssinakindi kubabulizaako ddala webaggya kyakulya.

EYADDUKA MU KKOOTI AKWATIDDWA MU BUBBI

Ow’ebijambiya eyadduka ku baserikale e Kalungu ssabbiiti ewedde eyatoloka mu kkooti e Masaka akubiddwa ebyasi ebimulumizza n’aweebwa ekitanda mu ddwaliro e Mbarara.

Ssekamwa wa poliisi Emilian Kayima agamba nti ono ye Musa Galiwango abaali balumbye omusawo e Mukoko mu Kalungu poliisi emale ebawoone munne Mohammad Kiddawalime amale attibwe abatuuze bwebaamusanga ng’agezaako okutuga OC eyali amukutte Galiwango weyaddukira.

Ono kigambibwa nti abadde mubbi eyeeyambisa ebijambiya n’emmundu nga kwebagasse n’okukwatanga abakazi be basanga gyebanyaga.

AB’EBY’OBULAMU BAAKUGEMA CHORELA

Ministry y’eby’obulamu emalirizza enteekateeka z’okugema bannayuganda ekirwadde kya Chorela ekiva ku bujama n’obuligo esuubirwa okuggyibwako akawuuwo mu mwezi ogujja ogwa Muzigo.

Ssekamwa wa ministry eno Vivian Nakaliika ategeezezza nti enteekateeka eno egendereddwamu kwongerera ddala kukendeeza mikisa gya kulumbwa kirwadde kino nga baakutandikira mu district gyekibadde kikyasinze okwegirisiriza.Eddagala lino okwawukanako ku ddala lyonna erigema lyakuweebwanga abantu abawezezza omwaka ogumu mu kamwa emirundi egy’enjawulo.

Ekirwadde kino kizze kiyimbya abataka be Hoima endubaale okuviira ddala mu mwezi ogw’okubiri weewaawonga kigenze kigemebwa amampaati naye ng’omuntu omu akyali ku kitanda.

 

 

JIMMY LWAMAFA NE BANNE BASABA KWEYIMIRIRWA

Abakungu abasatu abaakoleranga mu ministry y’abakozi ba Gov’t okuli eyaliko Omuwandiisi ow’enkalakkalira Jimmy Lwamafa,eyakuliranga ababalirizi b’ebitabo Christopher Obey ne Kaminsona eyavunanyizibwanga ku nsonga z’obusiimo Steven Kiwanuka Kkunsa leero basuubirwa okulabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi basabe okuddamu okweyimirirwa.

Bano essabbiiti ewedde baali baleeteddwa embuga wabula Amyuka omuyingiza w’emisango e mbuga Suzan Kanyange omusango n’agwongezaayo engeri abawaabi ba Gov’t gyebali mu kwekalakaasa.Bano bawererennemba na gwakwezibika Obuwumbi 15 obwali obw’akasiimo k’abaaliko abakozi bwebeekobaana ne Bob Kasango.

KABAFUNZAKI NE BASAJJABE BALI MU KKOOTI LEERO

Omulamuzi Margaret Tibulya owa Kkooti enkulu leero lwatandika mu butongole okuwuliriza omusango gwa minister w’ensonga z’abakozi Herbert Kabafunzaki ne banne okuli Bruce Lubowa ne Mugabo Brian.Omulamuzi Agnes Alum owa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi ye yasindika Minister Kabafunzaki mu kkooti eno omwezi oguwedde.

Ono ne banne bawerennemba na gwakwekobaana mu kuggya kyojamumiro eky’Obukadde 15 ku nnannyini Kampuni ya Aya Mohammad Hamid.