AMAWANGAMAGATTE KIVUDDEYO KU BANNAMAWULIRE

Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawangamagatte Antonio Guterres alagidde ekkomo ku kirinnyiriraddembe lya bannamawulire.

Mu bubakabwe obw’olunaku luno,Antonio ategeezezza nti bannamawulire bwebasuulirwa emisanvu balemesebwa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe ssonga baabuwe bangi bagenda mu bifo ebikyasinga okubeera eby’obulabe eri obulamu bwabwe,bangi nebatulugunyizibwa,abamu ne battibwa n’abakyala abamu nebakakibwa aka Kyagera.

Ono asabye bannamawulire bakuumibwenga bulungi kubanga omulimu gwabwe gwankizo mu kutereeza amawanga.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: www.un.org

BANNAMAWULIRE BATEEREDDWA,BABUUZIDDWA AKANA N’AKATAANO

Bannamawulire omunaana abakwatiddwa nebaggalirwa ku kitebe kya poliisi mu masekkati ga Kampala mu Kalasamayanzi akayise bateereddwa.

Bano kubaddeko Ssaabawandiisi w’ekibiina ekitaba bannamawulire Moses Bayola,omumyukawe Dan Mukisa,Issa Kigongo owa Bilaal,Jonathan Tusingwire owa Pearl,Issa Nakabale owa Urban,Philip Onyango owa Mama FM ne Ronald Kabuye owa Metro.Bano bakwatiddwa bwebasangiddwa nga batambula okugenda ku Emerald Hotel e Wandegeya okukuza olunaku lw’eddembe lyabwe.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

BANNAMAWULIRE BALABUDDWA

Gov’t esabye emikutu gy’eby’amawulire ne bannamawulire bennyini okuwanga emirimu gyabwe obudde obumala banonyerezenga kubyebaba bagenda okuwandiikako.

Mu bubaka bw’omukulembeze w’eggwanga obumusomeddwa Minister Frank Tumwebaze ku mikolo gy’olunaku lw’eddembe lya bannamawulire asiimye omulimu bannamawulire gwebakolera eggwanga wabula n’abasaba okuwandiikanga n’okusomanga amazima era beewalenga okusasamaza eggwanga.

Ono era asabye bannamawulire okukwataganira wamu ne Gov’t mu nteekateeka z’okuteekawo amateeka agalungamya omulimu gwabwe.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: Daily Monitor

EBIFANANYI BY’ABALAMUZI MU TTEMU LY’ABAYISIRAAMU BIGAANIDDWA MU MAWULIRE

Bannamawulire bagaaniddwa okukuba ebifananyi by’abalamuzi abali mu mitambo gy’emisango gy’ettemu eryakolwa ku bakungu mu diini y’ekiyisiraamu.

Abalamuzi abali mu musango guno nga bakulembeddwamu Ezekiel Muhanguzi bategeezezza bannamawulire nti okukuba ebifananyi byabwe mu mpapula z’amawulire kati ng’omusango gukyagenda mu maaso nenga guwedde kiyinza okubaako ensonga eziremesebwa okutambula obulungi.

Abawerennemba n’emisango gy’ettemu ly’abayisiraamu abali amakumi 32 baliko n’eyakuliranga aba Tabliq Yunusu Kamoga,mugandawe Sheikh Siraje Kawooya n’abalala nga bavunaanwa gwa kutta abakungu mu ddiini eno okwaliSheikh Mustafa Bahiga,Hassan Kirya n’okugezaako okutta Sheikh Jjemba.

Bano baakuddizibwa embuga nga 18th omwezi ogujja bawerennembe n’egibavunaanwa.Byo eby’okwerinda bibadde ggulugulu ku kkooti ensukkulumu olwa leero.


PHOTO: www.chimpreports.com

BANNAMAWULIRE BASABYE EDDEMBE LYABWE

Bannamawulire mu ggwanga bakubiriziddwa okutambuliranga mu mazima,obutawandiikanga mawulire gagudde lubege engeri gyebali amaaso n’amatu g’eggwanga.

Bwayogeddeko n’omusasi waffe,Minister w’eby’amawulire era eddoboozi ly’Obwa Isaabaruuli Oweekitiibwa Kaweesi Samuel Mugalaatiya ategeezezza nti kyamazima ddala awatali bannamawulire balina ddembe lyabwe mu ggwanga mpaawo mawulire ggwanga lyegayinza kufuna.

Kunsonga yeemu Oweekitiibwa Kaweesi agambye nti n’abeebyokwerinda mu Gov’t bonna bateekeddwa okumanya nti eggwanga ssibeebalitambuza bokka wabula n’ebitongole ebirala ng’eky’abaamawulire bwatyo naabasaba bawenga bannamawulire ebbeetu okusakanga n’okufulumyanga amawulire nga bwegalabika ka gabe nga gaanika obuziina ob’olyawo abakwatibwako lwebaneddako.

Oweekitiibwa waayogeredde bino nga bannamawulire ba wano beegasse ku bannaabwe okwetooloola enkulungo y’ensi yonna okukuza olunaku lw’eddembe lyabwe.

Bo bannamawulire mu ggwanga olunaku lw’eddembe lyabwe balukwatidde mu woteeri ya Golf Course wano mu Kampala n’abamu ku bakungu abavunaanyizibwa ku by’amateeka mu ggwanga wakati mu kusaba Gov’t n’ebitongole byayo eby’okwerinda nga poliisi okubawa eddembe lyabwe nga bwekirambikiddwa mu Ssemateeka w’eggwanga lino.

Kinajjukirwa nti eddembe lya bannamawulire ntakera lirinnyirirwa nga n’emisango egiri embuga egyekuusa ku kulinnyirira eddembe lyabwe mingi nga ne jjuuzi munnamawulire omu minister yamuyisaamu empi ng’amulanga kusaka mawulire gamukwatako.


PHOTO: fcau.org

BANNAMAWULIRE BAWEMUKUDDE POLIISI YA KUNO

Poliisi ya kuno ekutte kisooka mu kutyoboola eddembe lya bannamawulire wano mu ggwanga n’emisango 107 egy’essimba.

Alipoota y’eddembe lya bannamawulire ey’omwaka ogwaggwa 2015 eyatuumiddwa ‘political Coverage criminalized’ ekivvuunulwa nti ‘Okukwata amawulire g’eby’obufuzi gufuuse omusango’ efulumiziddwa ekitongole ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ekya Human Rights Network for Journalists eraze emisango 143 poliisi gy’ebazzizzaako olwo nekuddako abantu aba bulijjo n’emisango amakumi 25 ababaka ba Gov’t abamanyiddwanga ba RDC nebaddirira n’emisango etaano olwo bannannyini mikutu gya mpuliziganya nebakoobera n’emisango esatu gyebazzizza ku bakozi baabwe.

Omukwanaganya w’ekitongole kino Robert Ssempala ategeezezza bannamawulire banne nti guno gwegukyasinze okubeera omwaka omubi ennyo eri bannamawulire ng’ebitundu 98% eky’abaakosebwa basajja n’ebitundu 2% bakyala.


Photo:www.thelondoneveningpost.com

 

BANNAMAWULIRE BAKAAYIDDE PALAMENTI

Ekibiina ky’eddembe lya bannamawulire mu ggwanga ekya Human Rights Network kiwadde olukiiko lw’eggwanga ennaku ssatu zokka babeere nga bagguddewo woofiisi zaabwe mwebabaddenga bakakkalabiza egyabwe mu kifo kino kyebaataddeko Ssebukuule wa kkufulu nga bwekitaabe bwekityo bamaliridde okweyambisa eryanyi n’emikono emirala bagyeggulire.

Robert Ssempala omukwanaganya w’emirimu mu kibiina kino ekirwanirira eddembe lya bannamawulire agambye nti palamenti bweba terina biruubirirwa bibi esaanidde bannamawulire ebawe ekiseera ekisoboka bafune ebiwandiiko ebisaanidde basigale nga baweereza emirimu gyabwe sso ssi kubafubutukira nebasindiikirizibwa na kati nga kisanyi.

 

BANNAMAWULIRE BAKOLE OGWABWE MU KULONDA

Ekibiina ekiri mu buyinza ne Gov’t yaakwo gyebinaakoma obutagambwangako bannamawulire na kubaanika buziina eggwanga gyerinaakomanga obuteeyagalira mu kulonda kwa mazima na bwenkanya.

Mu kiwandiiko ekiwerako emiko amakumi 48 ekifulumiziddwa aba Human Rights Watch ekituumiddwa’’Keep the people informed’’ ekivvuunulwa nti ‘’Mumanyisenga bannayuganda ku bigenda mu maaso’’ n’okusingira ddala mu kiseera nga kino ng’eggwanga lyeteekereteekera okulonda.

Maria Burnet omu ku bakafulu mu kukola okunonyereza mu kibiina kino ekya Human Rights Watch ategeezezza nti baakoze okubuuliriza ku bannamawulire abasukka mu 170,abalwanirizi b’eddembe,bannabyabufuzi abali ku luuyi oluwabula Gov’t nebakakasa nti embeera eno eri bannamawulire mbinnyo nga baliko bye boogedde ku Gov’t.

Ono agambye nti bannamawulire naddala abagasakira emikutu gya wano egiweereza mu nnimi ennansi bazzenga batulugunyizibwa ntakera bangi nebakwatibwa nebaggalirwa,bangi bagobeseddwa ne ku mirimu n’abandi nebasindiikirizibwa nga byonziira lwakuwandiika na kusoma ku banene bannantagambwako sso n’emikutu kwebabyogeredde negitiisibwatiisibwa okuggalwa n’okuwererwa ddala.

Burnet era ategeezezza nti ye bwekatanda omukutu gwa Radio oba Telefayina gwonna negukyaza omu ku bali ku luuyi oluwabula Gov’t oba abeesimbyewo ku bifo ebinene mu ggwanga olwo zidda okunywa.

BANNAMAWULIRE BAKUGIDDWA KU KUSAKA AG’EBY’OKULONDA

Ng’akalulu k’omwaka guno kongeredde ddala okusembera,akakiiko k’eby’okulonda kavuddeyo nekabagawo emitendera egy’enjawulo eginaayamba bannamawulire mu kukwata amawulire agakwata ku by’okulonda nga gyesigamiziddwa ku Ssemateeka w’eggwanga mu kawaayiro ak’amakumi abiri mu obusatu akasooka n’ak’okubiri.

Emitendera gino gyanjuliddwa bannamawulire mu kubangulwa kwebabaddeko olwa leero wano mu Kampala nga Sam Rwakojo omuwandiisi w’akakiiko k’eby’okulonda y’agayisirizzaamu bannamawulire ku lwa banne mu kakiiko kano.

Mugo mubaddemu,bannamawulire okwewalira ddala ebikuma omuliro mu bantu nga bayita mu kuboola mu mawanga ne langi,okwewala okuwandiika amawulire agagotanya eggwanga,bakolenga nga bwebaatendekebwa nga bagondera amateeka g’omulimu gwabwe ate bawenga bannabyabufuzi bonna omukisa gw’omwaganya ogw’ekyenkanyi baleme kutuuliranga bamu ate bayitimule abalala.