AMERICA EDDUUKIRIDDE EBY’OBULAMU KU BYALO

Ba Nnakyewa abamerica amakumi 47 balayiziddwa mu nteekateeka egenda okuwanira eby’obulamu wano mu ggwanga nga baakusindika ku malwaliro ag’enjawulo basomese ssaako okubangula abataka n’abasawo b’ebyalo ku nsonga ezeetooloolerako obulamu obulungi.

Mu bano mulimu n’abaakuguka mu by’obulimi abagenda okussa ennyo essira ku kubangula abalimi n’okubasomesa entambula y’olujegere olugatta ennimiro n’obutale.

BATABANI BA KONY BATEEREDDWAKO ENVUMBO MU AMERICA

Gov’t ya America ddaaki etadde envumbo ku by’obugagga bya batabani ba Mawale Yosefu Kony babiri ebiri mu ggwanga lino ng’ebiro bino kawakuzi ono amazeeko emirembe abatuuze mu ggwanga lya Central African Republic.

Agavudde eruuyi eno gategeezezza nti eggwanika lya America wansi w’omukungu avunaanyizibwa ku kuteeka envumbo ku bintu byabalyake John Smith eby’obugagga byeboye kuliko ebya Salim ne Ali Kony nga ne bannansi ba America bawereddwa okuddamu okubaako emirimu gyebaddukanya nabo ng’envumbo yeemu yateekebwa ne ku by’obugagga bya kitaabwe Yosefu Kony kennyini mu mwezi gw’okusatu omwaka guno.

Kitegeezeddwa nti ababiri bano bazze bawulirwa mu nteekateeka z’eggye ly’abayeekera lino eriduumirwa kitaabwe Kony erimanyiddwanga LRA nga Ali Kony kigambibwa ye musika wa kitaawe mu byonna atenga bombi be bavunaanyizibwa ku by’empisa mu ggyerino.

Omu ku bano Salim Kony kigambibwa nti aliko n’abayeekera mu ggye lya LRA beyatta olw’obusiiwuufu bw’empisa bwebaalaga nti baagala kulekulira ggye lya kitaawe Kony.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: alchetron.com

OBUKADDE N’OBUKADDE BUYIIRIDDWA MU KULWANYISA EKIRWADDE KY’OMUSUJJA GW’ENSIRI

Ekitebe ky’America mu ggwanga kiwadde ekitongole ekyekebakkeba eddimu ly’okulwanyisa ekirwadde ky’omusujja gw’ensiri ekimanyiddwanga Malaria Consortium kontulakita ya Bukadde bwa Doola za America amakumi 41 n’emitwalo amakumi ana kikole obwannampala mu kuwanyisa ekirwadde kino mu district ez’enjawulo.

Enteekateeka eno egendereddwamu kukendeeza ku muwendo gwa bannayuganda abafa ekirwadde ky’omusujja nebekitawanya ob’olyawo ebimu ku biremesa eggwanga lino okuseseetuka mu by’enkulaakulana.

Omubaka wa America mu ggwanga HE Deborah Malac ategeezezza nti kaweefube ono waakusobozesanga bannayuganda okufunanga eddagala erijjanjaba ekirwadde kino awamu n’engeri zebayinza okuyitamu okukyetangira.

Enteekateeka eno ekomekkerezebwa mu gw’omunaana gwa 2021 esuubirwa okutuusa obuweereza ku bannayuganda abasoba mu Bukadde 13 mu district amakumi 43 ez’eggwanga ezitawaanyizibwa ennyo ekirwadde ky’omusujja gw’ensiri.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: www.malariaconsortium.org