Akalulu ka 2021 kagenze ku mitimbagano, teri kakuyege

Enkungaana za Kakuyege eri baneesimbawo ku bifo eby’enjawulo mu kalulu akalindwa omwaka ogujja 2021 ziggyiddwawo olw’ekirwadde ekyatuzinda.Bwabadde afulumya nnamutayiika w’enteekateeka z’akalulu akabadde katandise okwogeza bannayuganda ebikankana,Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda Simon Byabakama ategeezezza nti okusinziira ku biragiro ebizzenga biyisibwa ministry y’eby’obulamu mu kutangira ensaasaana y’ekirwadde kya COVID 19 bannayuganda baawerwa okuddamu okukungananga ate n’okuliraananga mu bifo eby’olukale ekimu ku biragiro bye batayinza kuyisaamu maaso.

Byabakama ategeezezza nti enteekateeka za kalulu kano zitandika n’omwezi guno mwetuli ogw’omukaaga okutuusa mu gw’okubiri omwaka ogujja 2021 okulonda kwonna lwekunaabaawo.Abaneegwanyiza okukiikirira ebitundu eby’enjawulo mu Tteeserezo ly’eggwanga ne Gov’t ez’ebitundu baakusunsulwa wakati w’omwezi ogw’omwenda n’ogw’ekkumi omwaka guno,mu gw’omwenda abaneegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga basunsulwe ate kakuyege waabwe bonna abeere wakati w’ennaku z’omwezi 20th ogw’ekkumi okutuusa nga 8th omwezi ogw’olubereberye omwaka ogujja 2021 olwo okulonda kubeerewo wakati w’ennaku z’omwezi 10th ogw’olubereberye okutuusa nga 8th ogw’okubiri.

BULAAYA BEEWEREZZA OKULONDOOLA AKALULU BATALAAZE EGGWANGA

Abatunuulizi b’akalulu akabindabinda wano mu ggwanga okuva mu mukago gw’amawanga ga Bulaaya amakumi 30 babinaanise engatto olwa leero neboolekera ebifo eby’enjawulo okwetooloola eggwanga gyebagenda okukolera ogwabaleeta kuno.

Amyuka akulira abatunuulizi bano Marian Gabriel ategeezezza nti abantu baabwe bagenda kwetegereza kalonda yenna anaabeera mu kulonda kuno nga baakugendanga nga babuuza awamu n’okukwataganira awamu n’abaalondesa,basisinkane abeesimbyewo mu bifo eby’enjawulo awamu n’abakungu b’ebibiina by’obwannakyewa.

Ono era agambye nti baakusimba amakanda gaabwe mu district okuli,Kampala, Mityana, Masaka, Mbarara, Kabale, Fort Portal, Masindi, Arua, Gulu, Lira, Soroti, Moroto, Mbale ne Jinja olwo bategeezenga bakama baabwe abanaabeeranga mu Kampala ku byebanaabanga bazudde yonna gyebanaabanga.

Ono era ategeezezza nti abatunuulizi abalala 80 essaawa yonna nabob agenda kuyingira mu ggwanga beegatte ku bano abasoose okulonda bwekunaaba kubuzaayo mbale.Bano bakulembeddwamu omukungu w’omukago gw’amawanga ga Bulaaya Eduard Kukan okuva mu ggwanga lya Czechoslovakia.


Photo Credit: trending.co.ug

BANNAMAWULIRE BAKUGIDDWA KU KUSAKA AG’EBY’OKULONDA

Ng’akalulu k’omwaka guno kongeredde ddala okusembera,akakiiko k’eby’okulonda kavuddeyo nekabagawo emitendera egy’enjawulo eginaayamba bannamawulire mu kukwata amawulire agakwata ku by’okulonda nga gyesigamiziddwa ku Ssemateeka w’eggwanga mu kawaayiro ak’amakumi abiri mu obusatu akasooka n’ak’okubiri.

Emitendera gino gyanjuliddwa bannamawulire mu kubangulwa kwebabaddeko olwa leero wano mu Kampala nga Sam Rwakojo omuwandiisi w’akakiiko k’eby’okulonda y’agayisirizzaamu bannamawulire ku lwa banne mu kakiiko kano.

Mugo mubaddemu,bannamawulire okwewalira ddala ebikuma omuliro mu bantu nga bayita mu kuboola mu mawanga ne langi,okwewala okuwandiika amawulire agagotanya eggwanga,bakolenga nga bwebaatendekebwa nga bagondera amateeka g’omulimu gwabwe ate bawenga bannabyabufuzi bonna omukisa gw’omwaganya ogw’ekyenkanyi baleme kutuuliranga bamu ate bayitimule abalala.