Okugatta enguudo- Kagina

SSenkulu w’ekitongore ky’enguudo ekya UNRA Allen Kagina, asabye amawanga agali mu buvanjuba bwa Africa okusoosowaza ennyo okugatta enguudo eziri mu kitundu kino ate zibeere za mulembe, kino kisobozese obwegassi n’eby’ensuubulagana okwanguyira bannamukago.

Allen Kagina agambye nti enkwatagana mu by’ensuubulagana yaakuyamba nnyo eby’enfuna mu mawanga gano okutereera, ekyetaagisa entambula ennyangu okusobozesa emirimu ejikolerwamu okutambuzibwa mu budde, nga kikakata ku zi gavumenti z’amawanga okufaayo ennyo ku nsonga y’okuyunga enguudo mu mawanga ga nna mukago.

Ye omubeezi wa minisita avunaanyizibwa ku by’empuliziganga ey’ekikugu Agrey Bagiire, asinzidde  mu nsisinkano ey’okukubaganya ebirowozo ku by’enguudo mu mawanga ag’obuvanjuba bwa Africa ebadde mu Kampala n’agamba nti amawanga ga Africa gakyetaaga okuwanyisigwanya obukugu, bwe ganaaba gaakuggya akagere mu by’enkulaakulana.


Photo: www.busiweek.com

Paalamenti yaakunoonyereza ku nsibuko y’obuwumbi obusatu

Paalamenti mu kakiiko kaayo akeetegereza ensaasanya y’ensimbi yaakunoonyereza ku nsibuko y’obuwumbi obusatu obwaggweredde mu kakuyege kwa Dr Specioza Wandera Kazibwe, luno jjuuzi lweyeesimbyewo ku kifo kya ssentebe w’akakiiko k’omukago gw’amawanga ga Africa, kyokka n’amaliriza nga awenjezza bwoya bwa mbuzi mu kkukuuzi.

Okulonda okwayindidde e Kigali ekya Rwanda Dr Specioza yamalirizza ali mu kifo kya kusatu, mu basatu abaabadde beesimbyewo gye byaggweredde nga okulonda kwongezeddwayo okutuusa mu gatonnya, ow’omwaka oguggya.

Amyuka ssentebe w’akakiiko kano omubaka Gerald Karuhanga agambye nti oluvannyuma lw’okulonda kuno, batandise okwetegereza awaavudde ensimbi ezaagenze mu nteekateeka eyo, nga waliwo okutya nti zandiba nga zaava mu kyagi kya gavument.


Photo: www.sunrise.ug

KONY ASITUDDE ENKUNDI MU CENTRAL AFRICAN REPUBLIC

Omwepisikoopi omu mu ggwanga lya Central African Republic alabudde ku kwezza obuggya kw’abayeekera ba Lord’s Resistance Army abaaduumirwanga Mawale Yosefu Kony.Omwepisikoopi ono ow’ekerezia Katolika Kitaffemukatonda Nestor Desire Nongo-Aziagbia ategeezezza nti abayeekera bano baliko ekigo ky’abaminsani ekisangibwa mu Ssaza ly’ekerezia erye Bangassou kyebaalumbye nebalirika emigobante abakiristu n’ababiikira Bannansi ba Latin America bebaakisanzeemu n’oluvannyuma nebababbako ensimbi,emmere n’eddagala lyabwe.

E MUBENDE AMASOMERO GATAMBULIRWA MITALA NA MITALA

Abatuuze ku kyalo Njagaasi ekisangibwa mu muluka gwe Bugonzi mu ggombolola ye Kitenga beekubidde enduulu eri abakulu abatwala district yaabwe eye Mubende badduukirirwe ku mbeera y’eby’enjigiriza mu kitundu kino ebitakyasoboka baana bato abatandika okusoma.Omu ku batuuze mu kitundu kino era omutongole wa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda eruuyi eno Mukyala Lwabutentule Jane ategeezezza nti abaana baabwe abaalibaddenga batandika okusoma tebalina ssomero liri kumpi lya ddaala lya Primary webayinza kubatwala ng’eriri okumpi liri mu mayiro 15 abaana bano zebatasobola kutambula.

Omukyala ono era ategeezezza nti baalina essomero mu kitundu kyabwe limu eryali erya Gov’t wabula neribaggyibwako ng’abakungu b’eby’enjigiriza beekwasa nti abazadde tebalitutteemu baana nga lyayitibwanga Kitaama PS era neriggalwa olwo abaana baabwe nebasigalira obutakyasoma.Mungeri yeemu ono agamba nti ye ne batuuze banne basobeddwa eka ne mu kibira kubanga enkola za Gov’t ez’enjawulo ewaabwe tezituusibwayo ng’ebintu bingi bawulira biwelire nga bikolebwa mu bitundu ebirala ng’ewaabwe bikirako ebyagobwayo.