Abalenzi bayitidde waggulu mu bya senior ey’okuna

Bya Kizindo Lule

Abaana ab’obulenzi basingidde wala bannyinaabwe ab’obuwala mu bigezo ebyava mu by’akamalirizo ebya senior ey’okuna ebyatuulwa omwaka oguwedde.Bw’abadde afulumya amakungula gano Ssaabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga UNEB Dan Nocrach Odong ategeezezza nti abayizi ab’obuwala omulundi guno tebibatambulidde bulungi n’okusingira ddala mu masomo ga Ssaayansi.

Odong ategeezezza nti wabula omulundi guno omuwendo gw’abaana b’obuwala gweyongedde bwogeraageranya n’emyaka egiwedde.Mu masomo agakoleddwa obulungi Dan Odong ategeezezza nti mubaddemu essomo lya Biology,erya Geography,okukuba n’okusiiga ebifaananyi n’amalala.Odong ategeezezza nti omuwendo gw’abaana abaliko obulemu ku mibiri abakoze obulungi mu bigezo bino gweyongeredde ddala bwobageraageranya n’abaliko obulemu abazzenga babituula.

Bwakwasiddwa ebyavudde mu bigezo bino Minister w’eby’enjigiriza Janet Kataaha M7 asanyukidde eky’emiwendo gy’abaana abawala okweyongera ku madaala g’eby’enjigiriza aga waggulu era n’abasaba awamu n’abazadde okubakwasizangako beeyongerere ddala waggulu.

Agamu ku masomero agasuubirira waggulu ebyavudde mu bigezo by’abaana baago wano mu Kampala n’emiriraano n’ebitundu by’eggwanga ebirala mulimu,Makerere College Sch,Mengo SS,Kabowa High School mu ggombolola ye Lubaga mu Kampala,Nabisunsa Girls Sch,St Matiya Mulumba Kkungu-Kyanja,Gayaza High School,Kittante SS,Kapeeka High Standard mu Nakaseke n’amalala ng’abasasi baffe bwe bagatuuseeko basanze abayizi balindirira byansusso amakungula gaabwe