Olw’abajulizi ba Uganda lusumuluddwa, ekerezia erutandiseeko

Essaza ly’Ekerezia Katolika erye Masaka litandise kaweefube w’enteekateeka z’olunaku lw’abajulizi olw’omwaka guno.Omusumba w’Essaza lino Omwepisikoopi Serverus Jjumba asinzidde Ssanje ekisangibwa mu ggombolola ye Kakuuto mu district ye Kyotera ku kiggwa ky’omulujizi Yowaana Maria Mzee Kiwanuka eyali omwana enzaalwa eruuyi eyo n’asaba abakirisitu b’essaza eryo okwefumintiriza ku Nneema gyebagenda okweyoolera mu kuteekateeka ebikujjuko by’olunaku lw’abajulizi ba Uganda nga bwe baalondebwa olukiiko lw’abeepisikoopi.

Omujulizi Yowaana Maria Mzee ebyafaayo biraga nti yazaalibwa wkati w’omwaka gwa 1852-1857 ku kyalo ekimanyiddwa nga Kisomberwa okumpi ddala n’ensalo ya Uganda ne Tanzania.Kitaffemukatonda Serverus Jjumba alaze obwennyamivu eri omuwendo gw’abagoberezi ba Kristo abaseerera buli lukya ne bava ku mulamwa eta ne bettanira amayisa ageeraliikiriza obuwangaazi bwabwe.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO- Abajulizi ba Uganda

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Nagawonye Olw’okutaano,ennaku z’omwezi ziri 2nd omwezi guno ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Ennono z’akawaayiro kaffe kano ziri nti bwewabaawo ekikulu ekigenda mu maaso mu ggwanga wonna tukyusa obwanga netujjukiza abantu ku bikijjukirwako.

Ennaku zino zonna mu mawulire gaffe tuzze twogera ku balamazi abaava yonna gyebaava nga bajja e Namugongo ku biggwa by’abajulizi ba Uganda abamanyiddwa okwetooloola ensi yonna.

Bano battibwa Omumbowa Mukaajanga eyali ow’embazuulu ennyo ku Myanga/mu kiseera Ssekabaka Mwanga II weyafugira Obuganda.

Abajulizi bonna abattibwa abakatoliki n’abakulisitaayo bali amakumi 45 nga battirwa wakati w’emyaka 1885-1887 ng’abaasookera ddala okuttibwa kwaliko Kakumba Makko eyali y’eddira effumbe,Rugarama Ysufu eyali Omunankole ne Ssrerwanga Nuuwa bano yattibwa nga 31st ogw’olubereberye 1885, abattirwa e Busega nebasembayo okutta Yoana Maria Muzeeyi eyali yeddira e Mbogo nga 27th ogw’olubereberye 1887.

Nga 3rd omwezi guno ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga omwaka gwa 1886 lwerunaku olwasinga okuttirwako abajulizi bano abangi era y’ensonga lwaki lwerumanyiddwa era nerukuzibwa ng’olunaku lw’abajulizi ba Uganda olutongole.

Abajulizi amakumi 26 be baaluttirwako.