Eyakwata ak’emyaka omukaaga alagiddwa yeewozeeko

Omusajja Ssekiruvu ow’emyaka amakumi 28 agambibwa okugagambula Obumuli bwa Kaanakawala ak’emyaka omukaaga gyokka asindikiddwa mu kkooti enkulu awerennembe n’ogw’okujjula ebitannaggya.Ono ategeerekesenga Charles Luyiro omutuuze we Kitara-Kikaaya wano mu Kawempe asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti ya City Hall Valeria Tuhimbise n’alagira addizibwe mu kkooti enkulu ewozesa egy’engeri eyo oluvannyuma lw’ekitongole ekiwaabi okutegeeza kkooti nti lumalirizza egyalwo egy’okunonyereza ku musango.

Kitegeezeddwa nti ono akaana yakatigaatiga n’oluvannyuma n’akeganzikirako mu kayumbake gye yakayitira nga 28th ogw’omunaana omwaka ogwo engeri gye kaali kawala ka muliraanwawe.

ABAANA ABABADDE BAWAMBIDDWA BALABISE

Poliisi mu ttundutundu lya Savanna ekakasizza okulabwa kw’abaana ababiri ababadde bawambiddwa okuva ku bazadde baabwe e Bukuuku ekisangibwa ku nsalo ya district ye Nakaseke ne Luweero.Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lino Paul Kangavve ategeezezza nti wabula bakyawenja omusajja nnannyini ssimu eyabadde ekubira bazadde baabwe nga basabwa Ssente za Kantanyi ate abaana.Bano kuliko abadde atemera mu myaka 16 n’ow’emyaka Omusanvu.

Ku nsonga z’abasibe amakumi 46 abaayooleddwa jjo mu bbinu eryabaddewo nga bannaLuweero baaniriza Omubaka wa Kyaddondo East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Robert Kyagulanyi bweyabadde ayita mu bitundu bya Luweero.Kangavve agamba nti batandise okubasunsulamu balabe abazzi b’emisango kayingo bavunaanwe.

 

ABAZADDE BASABIDDWA OKUTEREKERA ABAANA 

Kampuni ya Yinsuwa eya Prudential Assurance Uganda Ltd bawadde bannayuganda omukisa gw’okuteekerateekera eby’ensoma by’abaana baabwe gyebujja nga bayita mu nkola yaabwe etuumiddwa Pru-Dollah.

Ssentebe w’olukiiko olufuzi Apollo Makubuya ategeezezza nti abazadde kiba kibeetaagisa okuterekangayo dollah nga ziizo buli mwezi okumala emyaka 8-15.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

EBY’OKUTA ABAANA B’ABASIBE BIYIMIRIZIDDWA

Poliisi eyimirizza enteekateeka z’okuta abaana b’ateeberezebwa okubeera omu ku beekobaanitra mu ttemu ly’eyali Ssekamwa wa poliisi ya kuno Andrew Felix Kaweesi ababadde basuubirwa okuyimbulwa olwa leero.Ssekamwa wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emiriano Kayima ategeezezza nti bakyetaagayo ssabbiiti endala emu balabe obanga kino kinaasoboka nga kino kiddiridde akafubo akeevumbiddwa poliisi ne ba maama b’abaana bano abali wakati w’emyaka ebiri n’amakumi abiri.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: The Star, Kenya

WUUNO AYAGALIZZA KATABANIKE EKKOMERA LY’ABAANA

Nnamukadde atasibazikweya akutte katabanike akatemera mu gy’obukulu 13 n’akeetwalira ku poliisi ng’asaba katwalibwe mu makuumiro g’abaana bangumyamitwe kakangavvulwe amawmu n’okuddaabululwa ng’agamba nti kasusse okwetoolatoola n’ebyabandi.

Musajjamukulu ono Ssaalongo Ntaaho Emmanuel mutuuze mu muluka gwe Kagyerera ekisangibwa mu ggombolola ye Kibiga mu district eye Kiboga omusasi waffe amusangirizza ku kitebe kya poliisi e Kiboga ng’aleese katabanike akamanyiddwa nga Kyubahiro Henry kaaleese akalize ku miguwa oluvannyuma lw’okubba ensimbi emitwalo ena n’ekitundu eza muliraanwa agamba nti ayagala katwalibwe mu kkomera ly’abaana e Nagguru oba e Kampiringisa kakangavvulwe weesanga kanaawona obubbi bwati bwatangaazizza ku katabanike.

Ono era awadde ne bazadde banne amagezi agayinza okubayamba okukuza abaana nga tebaliimu mize gya kwetooleratoolera ku bitali byabwe.Abagambye nti beewalennyo okumanyiiza abaana ssente nga bakyali bato nga bayita mu kubasasula oluvannyuma lw’okubakolerako emirimu.