stanbic

Stanbic ne Uganda breweries baanukudde omulanga gw’okutema emiti

Ekittavvu kya Stanbic Bank nga kikwataganidde wamu n’abasogozi b’omwenge aba Uganda Breweries batongozza enteekateeka z’okusimba emiti Obukadde amakumi 40 mu kaweefube agendereddwamu okwongera okukuuma obutonde bw’ensi.Bano baakutandika na misinde mibunabyalo egigenda okusimbula wano mu Kampala nga gitunudde mu lidda e Gulu egy’ekika kya Lire ng’ennaku z’omwezi 7th okutuuka nga 8th omwezi ogujja ng’eno bwebagenda bavumirira okutema ebibira ssaako okwagazisa abantu okusimba emiti.

Emisinde gino egigenda okufuumuuka okumala kkilometer 330 gyakuddirirwa Olusimbamiti kakuuse wansi w’omubala ogunagamba nti “Obukadde amkumi 40 mu ssaawa munaana’’.Alipoota okuva mu ministry y’eby’amazzi n’obutonde bw’ensi eraga nti yiika z’emiti emitwalo kkumi n’ebiri gye gisaanyizibwawo omwaka.

[fbcomments data-width="100%"]