POLIISI ERABUDDE ABAANA N’ABAZADDE KU BAFERE

Poliisi mu Kampala n’emiriraano erabudde abazadde n’abayizi okubeera abeegendereza ennyo mu kuzza abaana ku masomero olw’abakuluppya abangi ennyo ababateegedde mu kibuga Kampala n’okusingira ddala mu ppaaka za takisi,mu butale egulwa ebikozesebwa ku masomero ssaako mu Bbanka gyebasasulira ebisale.

Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lino Luke Owoyesigire ategeezezza nti abakuluppya bano beeyambisa nnyo ebiseera nga bino nebatanula okunyaga abazadde n’okubuzaabuza abayizi.Ono ategeezezza nti poliisi esindise basajja baayo mu bitundu ebirimu ebisulo by’abayise n’abadigize okutangira abaana ab’obuwala ab’obuwala obulenzilenzi okubabuzaabuza ne bubibatwalamu.

[fbcomments data-width="100%"]