ochola

Poliisi ejjuzza abakulira ebitongole byayo

Ssaabapoliisi wa kuno Okoth Ochola ddaaki ajjuzza ebifo omukaaga eby’abakungu ba poliisi abaggweebwako endagaano z’emirimu gyabwe.Mu baalonze mulimu Hassan Kihanda akwasiddwa ogw’okukulira poliisi y’abazimyamwoto azze mu bigere bya Mugisa Joseph,Senior Commissioner of Police Richard Edyegu akulire eby’emitendera n’ekkanikiro lya poliisi azze mu bigere bya Geofrey Bangirana,Henry Tukahiirwa y’agenda okukulira eby’ensonga z’abakozi n’empeereza yaabwe azze mu bigere bya Lemmy Twinomujuni.

Mu balala abazze kuliko Christine Nanding avunanyizibwa ku ddembe ly’obuntu n’eby’amateeka azze mu bigere bya Erasmus Twaluhukwa ne Kaminsona Bazil Mugisa n’akwasibwa ogw’okuduumira poliisi y’ebidduka n’enguudo ng’azze mu bigere bya Dr Steven Kasiima.

[fbcomments data-width="100%"]