wash

Ow’eby’endiisa abakunze okuyonja ebibala bye balya

Mu kaweefube agendereddwamu okulaba ng’eby’obulamu bya bannayuganda bisigala ggulugulu wakati mu bweraliikirivu eggwanga bweririmu,munnabyabulamu era omukugu mu by’endiisa Nabirye Zabiinah omusomesa mu bbanguliro ly’abasawo mu Ssettendekero wa Makerere erye Mulago abasabye babeere bayonjo nnyo mu byonna naddala emmere n’ebibala bangi bye bettanidde okulya balabe nga bongera emibiri gyabwe embavu ezirwanyisa COVID 19.

Nabirye ategeezezza nti ebibala bino biba birungi nnyo olw’emigaso egibirimu ssinga biyonjebwa bulungi nga tebinnaliibwa era n’agamba nti wabula bwe byozebwako ne ssabbuuni ng’abasinga bwe bakola ensangi zino olw’okwewala obukyafu bisaana bitukuzibwe oba biyumunguzibwe n’amazzi agafumbiddwa.

[fbcomments data-width="100%"]