img-20200511-wa0013-1

Omuwendo gw’abafiridde mu kalinaabiri gweyongedde bali 11

Omuntu omulala omu nga mulamu aggyiddwa mu bitoffaali by’ekizimbe ki Kalinaabiri eky’emyaliiro ena ekyabumbulukuse ne kigwiira abazimbi mu ggandaalo lyetwakamalako wano e Kansanga mu Zone emanyiddwa nga Kiwempe.

Omu ku bagatusakira wano mu Kampala Robert Ssegawa atuuse ku kizimbe kino enkya ya leero atutegeezezza nti bateebereza abantu abalala nga munaana bateeberezebwa okuba nga bakyalemedde mu bitoffaali by’ekizimbe ekyo.Wetujjidde ku mpewo ng’emirambo emirala ebiri gye giziikuddwa okuva mu kisassalala ky’ekizimbe ekyo.

Emirambo wetwogerera giweze 11 n’abalamu 3 be baakaggyibwayo.

[fbcomments data-width="100%"]