OMUMULI GW’EBY’ENNONO- KASAMBULA OGW’OMUSANVU

Olwa leero lwa Kazooba,Bbalaza ennaku z’omwezi ziri 3rd omwezi guno ogwa Kasambula Ogw’omusanvu gwetwakatandika.

Ng’ennono z’akawaayiro kaffe kano ak’amakulu n’ennono y’erinnyalyo bweziri,buli ntandikwa ya mwezi twogera ku nnono y’erinnya ly’omwezi ogwo.

Omwezi guno gumanyiddwa nga Kasambula engeri okuva edda gyegwayakangamu omusana era Abaganda mwebaasambuliranga oba mwebaategekeranga aw’omusimba mu masimba agaddiriranga mu mwezi gw’omunaana.

Olw’omulimu guno ogwakolerwanga mu mwezi guno ogw’okusambula Omuganda yasalawo gutuumwe Kasambula.

Omusomi waffe jjukira nti Omuganda yatuumanga amannya okusinziira ku mirimu gyeyakolanga n’ekiseera mweyagikoleranga.

[fbcomments data-width="100%"]