namugongo

Olw’abajulizi ba Uganda lusumuluddwa, ekerezia erutandiseeko

Essaza ly’Ekerezia Katolika erye Masaka litandise kaweefube w’enteekateeka z’olunaku lw’abajulizi olw’omwaka guno.Omusumba w’Essaza lino Omwepisikoopi Serverus Jjumba asinzidde Ssanje ekisangibwa mu ggombolola ye Kakuuto mu district ye Kyotera ku kiggwa ky’omulujizi Yowaana Maria Mzee Kiwanuka eyali omwana enzaalwa eruuyi eyo n’asaba abakirisitu b’essaza eryo okwefumintiriza ku Nneema gyebagenda okweyoolera mu kuteekateeka ebikujjuko by’olunaku lw’abajulizi ba Uganda nga bwe baalondebwa olukiiko lw’abeepisikoopi.

Omujulizi Yowaana Maria Mzee ebyafaayo biraga nti yazaalibwa wkati w’omwaka gwa 1852-1857 ku kyalo ekimanyiddwa nga Kisomberwa okumpi ddala n’ensalo ya Uganda ne Tanzania.Kitaffemukatonda Serverus Jjumba alaze obwennyamivu eri omuwendo gw’abagoberezi ba Kristo abaseerera buli lukya ne bava ku mulamwa eta ne bettanira amayisa ageeraliikiriza obuwangaazi bwabwe.

[fbcomments data-width="100%"]