amuriat

Olukungaana lwa FDC e Mbale lugudde Butaka

Poliisi eyungudde basajja baayo abampi nábawanvu nébayiwa ku kibangirizi kyé Mpummudde ekisangibwa mu district ye Mbale nékigendererwa ekiremesa olukungaana lwa bannakibiina kya FDC olwémyaka 15 lwebataakuza gyebuvuddeko ne basalawo balukuze leero.Bannakibiina kino baali baakukuza lunaku luno nga 6th omwezi oguwedde nébikujjuko mu kisaawe e Namboole bannakibiina kino eruuyi eyo olwóbungi bwabwe ne basalwo bakuze olunaku luno leero.

Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lyénsozi za Elgon Robert Tukei ategeezezza nti abakulu bano baawandiikira Ssaabapoliisi wa kuno nga bamusaba olukusa nátabaanukula.Bo bannakibiina kino bagamba nti baawandiikira nábakulembeze aba wansi omuli námyuka Town Clerk wa Mbale Martin Busiku nábakkiriza okukozesa ekibangirizi ekyo.

[fbcomments data-width="100%"]