kazimba

Okutuuza ssaabalanirizi omuggya kwengedde

Obukadde bwa ssente za wano obusoba mu bikumi 350 bwe bukyetaagisa mu nteekateeka z’emikolo gy’okutuuza Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda ey’abantu bonna era ebuna wonna Kitaffemukatonda Steven Kazimba Mugalu emikolo egiteekebwateekebwa okubaawo nga lumu ogw’okusatu omwezi ogujja ogwa Mugulansigo.

Bwayogeddeko naffe Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi olw’omukolo ogwo Nnampala wa gavumenti era Omubaka omukyala owa Kiboga Ruth Nankabirwa asiimye nnyo Abakulisitaayo olw’okwewaayo ne batoola kyonna kye batodde ku lw’enteekateeka eno era n’abasaba n’ekisigaddeyo bakwasize wamu.Muzzukulu wa Kayiira e Mugulu Nankabirwa ategeezezza nti baakakunganya ebintu ne ssente enkalu ebiweramu Obukadde 780 n’omusobyo.

[fbcomments data-width="100%"]