cancer

OKUKEBEREBWA KOOKOLO KU BWEREERE MU DDWALIRO E MULAGO KUTANDISE

Ng’emu ku mpagi z’okweddizaamu embavu obujja mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya kookolo ettabi ly’eddwaliro erye Mulago erijjanjaba ekirwadde kino erya Mulago Cancer Institute lyakukebera bannayuganda ekirwadde kya kookolo ow’ebika byonna ku bwereere okumalako omwezi guno gwonna ogwa Mukutulansanja Ogw’okubiri.

Akulira eby’enteekateeka mu kugaziya okumanyisa bannayuganda ku kirwadde kino mu ddwaliro lino Dr Noreb Mugisha asabye abantu eb’ebiti byonna bajjumbire enteekateeka eno bagende bakeberebwe kino kibayambe okumanya bwebayimiridde engeri ekirwadde kino gyekisobokera ddala okujjanjabwa ssinga kirabwa bukyali.

[fbcomments data-width="100%"]