nyanjura

Nyanjura agudde mu gufo, y’amyuka Lord Mayor

Munna Forrum for Democratic Change Doreen Nnyanjura y’alondeddwa ku bumyuka bwa Loodi Mayor w’ekibuga Kampala oluvannyuma lw’omukyala Hajjati Sarah Kanyike abadde mu kifo kino okugonnomolwako ogufo gw’obwa Ssenkulu bw’ekitongole ekiddukanya Kampala avunanyizibwa ku by’ekikula ky’abantu n’ebitundu.

Agatusakira mu masekkati ga Kampala Robert Ssegawa abaddeyo atutegeezezza nti Hajjati Sarah Kanyike enkya ya leero asoose kwevumba kafubo n’Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago gyebakkanyirizza n’amukwanga n’ebbaluuwa ewummula obumyukabwe bweyalayizibwako.

[fbcomments data-width="100%"]