court

NNAMUKADDE OGW’OBULOGO GUMUZZIZZA E LUZIRA

Okuvaako mu mbuga z’amateeka omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti ya Buganda Road wano mu Kampala Joan Aciro azzeemu n’asindika ku alimanda musajjamukulu atemera mu gy’obukulu ekinaana lwakusaalimbira mu woofiisi z’omulamuzi.

Ono ategeerekesenga Isa Kiwanuka omutuuze w’e Mityana essabbiiti ewedde yakwatibwa lubona ng’aliko ebya wongo byateeka mu ntebe y’omulamuzi Jameson Karemani n’ey’omuwaabi wa Gov’t ng’ebula ssaawa busaawa kkooti etuule.

Ono avunanwa ne munne Alice Nalule mukyala wa Zacheus Ssekiziyivu eyeeyambisa Kiwanuka atege eddagala lino mu ntebe y’omulamuzi asobole okukyukanyisa ennamula n’endowooza yaabwe mu musango gwa bba.

Omulamuzi James Eremye bano ababiri n’omukyala Alice y’abazzizza ku alimanda e Luzira bagira beekavvulira bbando n’ebijanjaalo ebikubyeko obugule bwa Kawuukuumi okutuusa ng’ennaku z’omwezi amakumi 22nd omwezi guno lwegunaddamu okuwulirwa.

 

[fbcomments data-width="100%"]