museveni

Museveni ayogedde ku bafiira ebweru,baziikweyo

Bannayuganda ekirwadde kya COVID 19 bekinattiranga ebunaayira baakuziikwanga eyo awatali kubazza ku butaka.Mu kwogera kwa Kabwejungira Museveni akawungeezi akayise ategeezezza nti mpaawo bisigalira bya munnayuganda binakkirizibwanga kuddizibwa kuno ssinga kinaakakasibwanga ng’afudde bulwadde buno engeri obuwuka obukireeta gyebusigala nga bulamu okumala ekiseera ku mubiri gw’omuntu abeera afudde obulwadde obwo ssaako ennono zaffe wano ez’okwesembereza ennyo bannaffe ababa bavudde mu bulamu.Omukulu agambye nti na wano mu ggwanga ssinga kanaatandanga omuntu n’afa olw’obulwadde buno kyagambye nti asaba aleme kukiwulira, omulambo gunaazikwanga eyo awatali kugutambuza kwongera kusaasaana kwakyo.

Museveni asiimye ab’eby’obulamu abasawo n’ababeezi baabwe abakoze omulimu amakula mu kaweefube w’okujjanjaba abalwadde bano n’okusingira ddala abaasookerwako ng’ekirwadde kyakatuzinda era nga tewaali kweteekateeka kwonna wabula ne bakola kyebaasobola.Mu kwogera kuno okw’omulundi ogw’ekkumi n’esatu Kabwejungira asabye abavunanyizibwa ku by’emisaala obutalonzalonza bongeze bannassaayansi ensako n’emisaala olw’emirimu amtendo gye bakolera eggwanga n’awa eky’okulabirako ky’mbeera y’obulwadde buno obwatuzinda nti bakozenga butaweera buli kaddde okunonyereza.

Zo pikipiki n’obugaali Museveni alagidde zongerweko obudde zikomenga okutambula ku ssaawa kkumi n’emu ez’akawungeezi sso ssi munaana nga bweyali agambye mu kwogera okw’omulundi ogw’ekkumi n’ebiei.Omukulu ono ategeezezza nti okutangira abagoba ba pikipiki zino okutambula baakigendereramu kubaziyiza kutambula kiro ekyalyongedde emikisa gy’ekirwadde okusasaana.Bo abanaabeeranga mu mmotoka ezisaabaza eby’amaguzi nabo bakendeezeddwa okuva ku bantu abasatu nga bwekyali kyalangirirwa ne baddizibwa ku muntu omu era mu kaweefube y’omu.

Museveni yeeweredde okutandika okuyingizanga emmere okuva mu mawanga ag’ebunaayira ssinga kanaatanda abaguza Gov’t emmere omuli obuwunga n’ebijanjaalo okwongera okuduumuula emiwendo gyayo.Omukulu ategeezezza nti bannayuganda babadde batandikidde ddala okweyambisa omukisa gw’ekizibu ekyatuzinda nga balinnyisizza emiwendo gy’obuwunga n’ebijanjaalo beeyoolere omudidi mu kubiguza woofiisi ya Ssaabaminister kyavumiridde n’agamba nti ajja kuwalirizibwa okugigula ebunaayira waakiri ku ssente entono okusinga bannansi okunyaga eggwanga lyabwe obutereevu.

[fbcomments data-width="100%"]