museveni-atandise-ku-nsonga-za-makerere

Museveni avuddeyo ku ky’enzige ataddewo buwumbi

Gavumenti eramula kuno etaddewo Obuwumbi kkumi na kamu mu kaweefube w’okuziyiza n’okulwanyisa Enzige ez’ekika ky’omuddungu eziwulirwa mu mawanga g’ettundutundu lino.Kabwejungira M7 y’alagidde ministry y’eby’ensimbi awamu n’okuteekerateekera eggwanga okussa ku mabbali ensimbi ezo balabe nga bagula eddagala ery’amanyi n’ebyuma ebinaakozesebwa mu kuzifuuyira n’okuzisindiikiriza zireme kutuusa buzibu wano mu ggwanga.

Enzige zino amawulire galaga nti zaalabiddwako ddala mu ggwanga lya Kenya mu Ssaza lye Turkana ery’abalunzi ng’okusala okuyingira wano lutemya butemya olw’eriiso.Ekiragiro kya Kabwejungira M7 kino kikakasiddwa akulira ekitongole ekitwala abalimisa n’abalundisa mu ministry y’eby’obulimi Beatrice Byarugaba.

[fbcomments data-width="100%"]